Okutangira ebiwuka ebyonoona ebirime
Ekisooka, lambula ennimiro mu nkola y’ennukuta W era bwoba olambula, tambula mita 5 mu nnimiro ogende mu bifo 5 omale olambule ennyiriri z’ensalosalo weetegereze ebirime 10-20 mu buli kifo okulaba obubonero bw’obukosefu bw’akasaanyi akayitibwa fall armyworm.
Okufaananako, wandiika omuwendo gw’ebirime ebikosefu mu kifo ekisooka omale ogende mu kifo ekiddako era okole bwotyo ku bifo ebirala byonna. Singa ebirime 2 ku birime 10 mu buli kifo bikosefu, kozesa eddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime eriyitibwa fawligen.
Oluvannyuma lw’okufuuyira, tewali alina kuyingira nnimiro ppaka bwerikala era ekisembayo ddamu olambule ennimiro oluvannyuma lwa wiiki era oddemu ofuuyire buli wiiki okumala wiiki 3-5.