Londa abazadde nga osalawo ku byenyanja byonokozesa okwaluza. Okusooka pima ekyenyanja okumanya obuzitoi bwakyo. Olwo okikube hormone eya maggi nga y’enkana ekitundutundu ky’obuzito bwakyo. Kikube empiso ku layini eziri ku lubuto era bwomala okuzikuba Ovulin, zizeemu mu kidiba okumala esaawa 8-10.
Okutekateka ekidiba
Ekidiba ky’enkokoto kyekisinga okwagalibwa. Okusooka, yoza era okitekemu eddagala eritta obuwuka bwa bacteria bwona. Amazzi go bwegaba nga ssi malungi kulundiramu by’enyanja, sooka okozese ekyuma ekilongoosa amazzi okugalongoosa.
Yonza era otte obuwuka bwona mu butimba obujja okozesebwa mu kuvuba. Osobola okutta obuwuka mu butimba nga okozesa potassium permanganate kubanga amanyikibwa okutta obuwuka obwekika kyona.
Nga omazze okujjuza amazzi mu kidiba, siba akatimba kabike amazzi.
Kozesa akuma akakebera amazzi okulaba omutindo gw’amazzi. Kebeza ebintu nga pH, obugumu bw’amzzi, wamu n’obungi bwa ammonia.
Okwaluza obw’enyanja obuto
Nyiga ekyenyanja okwetolola wansi w’olubuto okufulumya amaggi nga gayika mu kalobo era ogapime agavudde mu by’enyanja ebigenda okuzaala.
Ebyenynaja ebisajja bitte obisale okugyamu ekisawo ky’enkwanso. Osobola okusalira ekisawo ky’enkwanso ku sowani awo noyiwako amazzi g’omunnyo oba okuyiwa enkwanso mu maggi mwenyini.
Enkwanso ezitegekebwa ziyibwa mu maggi nezitabulibwa okuwakisa amaggi.
Sasanya amaggi ku katimba nga kali kungulu ku mazzi amaggi gasobole okwalula.