Mubulunzi bw‘enkoko mulimu endwadde nyingi ezitataganya enkula yaazo wabula endwadde zino osobola okuzewala nga ogoberera ebyo ebirambikiddwa mubulunzi bw‘ebinyonyi.
Ekirala endwadde zino osobolera ddala okuzetangira nga oyita mubulunzi bw‘enkoko obwomulembe okugeza nga ozuula mangu enkoko endwadde wamu n‘okuzijanjaba. Kyamugaso nnyo okulambula obukoko obuto buli kiseera awamu n‘okugula enkoko kubatunzi b‘enkoko abesigika okwewala okugula enkoko endwadde.
Ebigobererwa mubulunzi
Enkoko zirundire mukifo ekiyonjo awamu n‘okuziriisa kummere emala ate era nga erimu ebirungo wamu n‘okwetangira endwadde ezitataganya enkula y‘enkoko.
Tangira nyo abantu obutasemberera nkoko zirundibwa okwewala okusasana kwendwadde awamu n‘okwawula enkoko endwadde mu nnamu.
Faayo nyo okuziimba ennyumba y‘enkoko nga yamulembe awamu n‘okugikuuma nga nyonjo nga erimu obukuta obuwa enkoko ebbugumu.
Ffuba okulaba nga enyumba y‘enkoko erina amabanga agamala okuyisa obulungi empewo. Mungeri yeemu buli luvannyuma lw‘okutunda enkoko ezibadde zirundibwa yonja awamu n‘okufuuyira enyumba y‘enkoko wamu n‘ebyo eby‘eyambisibwa mubulunzi.
Buli kiseera yonja ebikozesebwa mubulunzi bw‘enkoko wamu n‘okukyusa obukuta. Ekirala zingiza ekifo enkoko wezirundibwa okwewala ensolo.
Wewale okugabana ebikozesebwa mubulunzi n‘abalunzi abalala kubanga kino kisasanya endwadde. Tereka emmere y‘enkoko mukifo ekitatuukamu mmese na buwundo, ekifo kino kirina okuba nga kiyonjo ate era nga kikalu bulungi kisobozese emmere eterekedwa obutayononeka.
Ekisembayo, nga tonaleeta nkoko ndala sooka oyonje era ofuuyire ennyumba y‘enkoko bulungi era weewale okulundira enkoko mukifo eky‘omugoteko.