Kikulu okwewala bikanywa musaayi okulumba ebyenyanja byo. Ebintu bino byabika bya njawulo era nga mulimu, ebinyonyi, emisota, n’ebikere. Ebyenyanja ebikyasinze okukosebwa bikanywa musaayi byebyo ebitono nga obuyamba wamu nebikyali ebitototo kubanga bino bibeera bitono era nga kyanguyiza bikanywa musaayi okubikwata.
Okwewala okulumbibwa bikanywa musaayi
Mu kidiba ekyasimibnwa, okwegendereza kulina okubawo okwewala okulumbibwa bikanywa musaayi mu kidiba ekisimi. Kino kiri bwekiti kubanga ebidiba bino bitera okutekebwa mu bifo ebyetolodwa ensiko.
Ku bidiba eby’enkokoto oba amatundubaali, osobola okukozesa obutimba okutangira bikanywa musaayi okuyingira okukwata ebuenyanja. Obutimba bujira mu mitendera egyenjawulo.
Osobola nokuzimba ekibika ku kidiba nga kino kisikiriza ebinywa omusaayi okusingira ddala ebinyonyi okuyingira mu kidiba.
Kakasa nti akatimba okatekako bulungi ku kidiba nti wadde kikanywa musaayi kize okulya ebyenyanja kikom,a ku katimba naye nga tekiyingide munda mu kidiba kulya byenyanja.