Endwadde ziba biziyiza ku kulakulana kw’omuluzi w’enkoko yena nolwekyo zrtaaga okuziyiza.
Fowl pox asobola okugira mu ngeri bbiri olumu nga mukalu olumu nga mubisi. Bwaba omukalu, ebitundu awatali byooya ku nkoko wagyawo amabwa ebiwonera mu wiiki nga 2. Omubisi alabikira ku mabwa ku mimwa wamu n’amaziga mu maso g’enkoko. Obulwadde tebulina ddagala naye obubonero bumala nebubula nga wayise akasera era okubwewala olina kugemesa. Era lwanyisa ensiri mu kisibo kyo kubanga zitambuza obulwadde buno okuva ku nkoko emu okudda ku ndala.
Okubuzuula wamu n’okujjanjaba
Infectious bronchitis (senyiga) ajja nga musujja. Ebinyonyi ebirwadde bikendeeza ku mbiika y’amaggi, tezagala kulya, wamu nokuvamu amaziga mu maso kwosa obusibu mu kussa. Obulwadde tebulina ddagala naye antibiotics ziziwebwa okwewala okuleeta endwade endala ate nga okubwewala olina kugemesa.
Mareks akwata enkoko wakati wa wiiki 12 ne 25 era nga obubonero bubamu okufuna ebizimba, enjuba y’eliso okukyukakyuka wamu nokusanyalala oluusi. Obulwadde tebulina ddagala naye nga enkoko bwewona, esigala ebutambuza nolwekyo olina okugyawula.
Omusujja (Newcastle) ogulabira ku bubonero nga obuzibu mu kussa, okuvaamu ebintu mu nyindo, amaso okubamu ebyeeru, okusala ku maggi agabikibwa, okukyuka ensingo wamu nokusanyalala. Obulwadde tebulina ddagala naye antibiotics ziyamba okuziyiza okuvaamu endwadde endala. Okugemesa sako nobuyonjo byebiyamba okubwewala.
Coccidiosis aleeta ekiddukano ky’omusaayi mu binyonyi, okukendeza obuzito, ebyooya okusituka ku nkoko. Okujjanjaba okozesa antibiotics ate nga okubwewal olina kukuuma ebirirwamu, mwezifunira ebbugumu wamu nekiyumba nga biyonjo.