Nga waliwo okwelya, ebyenyanja bileka ebiwundu ku byenyanja ebirala era y’ensonga enkulu evirako okukendeera kw’ebyenyanja mu kisiba, ovuba ebyenyanja bitono okusinzira ku bwana bwewatekamu mu ntandikwa.
Ekireeta obusezi
Omujjuzo nga abalunzi bateeka ebyenyanja bingi mu kidiba nga bisuka ku busobozi bwakyo. Wadde nga bukyali buto, ekidiba kyo kitekemu obungi obusanide. Bwoba tosobola kutebereza bungi bw’akidiba kyo wakiri tekamu bitono okusinga okutekamu omujjuzo.
Endiisa etagoberegana y’ensonga endala evirako okwelya. Ebyenyanja bw’ebitalisibwa bulungi okugeza bwewabawo ebiseera webilumisibwa enjala, enjala ebiretera okutandika okulya binabyo.
Bwoba obirisa, kakasa nti ebyenyanja obiliisa emere ey’omutindo kwegamba tomala gabiwa buli kyosanze naye funa emere ey’omutindo omulungi.
Okutabika ebeyenyanja ebitenkanankana mu bunene nga abalunzi basitokinga nga tebasengese byenyanja. Kino kiberawo nnyo eri abalundira awafunda nga balina ebidiba bitono. Kino nawe klikukosa nti tosobola kumanya obungi bw’emere bwenyini bwolina okuliisa engeri gyebiba nga tebyenkankana bunene.