Omuceere mmere nzalirwana eri abantu bangi era ennima yagwo ewa abantu abawera emirimu wabula banno era bafuna okusoomoozebwa .
Okumala emyaka, ennima y‘omuceere ebadde etaataganyizibwa ebisoomooza ng‘omuddo . Omuddo ogwonoona ebirime kizibu kyamaannyi eri amakungula g‘omuceere. Engeri y‘okwewala mu omudddo eyawulwamu emitendera ebiri okugeza, waliwo nga tokozesa ddagala lyonna n‘engeri nga weyambisiza eddagala ettonotono.
Engeri y‘okwewala omuddo ogwonoona omuceere nga
tokozesa ddagala.
Engeri eno etandiika nakuteekateeka ttaka, okusunsula ensigo n‘okozesa ensigo ezirongoseddwa. Ensigo ezitalongoseddwa ziba n‘ensigo z‘omuddo ogugwonoona ebirime wozisimba nga tozirongoseza zisobola okuleeta omuddo oguteetagibwa mu nnimiro.
Enkozesa yakakoddyo ak‘okuziyiza omuddo nga abalimi basooka kuteekateeka ttaka , olwo enkuba esooka wemala okutonnya ,omuddo gulaabika era gunno gujjibwamu ku kukabala okw‘okubiri nga twetegekera okusimba. (sterile seed bed preparation).
Engeri y‘okwewala omuddo nga tukozesa eddagala
Omutendera gunno gulimu okufuuyira eddagala nga tonasimba n‘okufuuyira ng‘omazze.Woba okozesa eddagala erifuuyirwa ng‘omazze okusimba,fuuyira ng‘omuddo gukyali mutto nnyo okugeza ng‘omuddo gunatera okufuna ebikola oba nga tegunaba.
Omuddo weguyisa omutendera nga gulinaa obukoola 4, awo eziseera eky‘okozesa eddagaala lifuuyira ng‘omazze okusimba kibeerra kikuyiseeko.