Obutungulu buwangaala kitono noolwekyo endokwa zirina okukumwa okumala wiiki 6 nga tebunaba kusimbulizibwa. Okusimbuliza endokwa kukolebwa nga zimaze okufuna ekikolo nga kigezemu ekiweza obuwanvu bwa 15cm. Endokwa nga zikyalina ekipimo ekitono ziwe amabanga ageyawudde nga ga 10cm ate endokwa ennene ziwe amabanga ageyawudde ennyo.
Gattamu ekigimusa ekya DAP oba NPK ng‘osimba endokwa zisobola okuba ezamaanyi. Ekigimusa kirina okusooka mu kinnya era ensigo terina kukona ku kigimusa kuba kiyinza okujjokya.
Okulikiriza ensingo.
Okulikiza ensigo kuteeekwa okukoma singa obutungulu butandise okuvaako ettaka n‘okutandiika okukola. Weewale okuteeka ettaka ku mirandira kuba akatungulu ketaaga okukula nga kava mu ttaka.
Oluvannyuma lwa wiiki 5, teekako ekigimusa nga okozesa ekigimusa ekiyitibwa CAM kubanga kiyamba ebikoola okukola emmere. Nga akatungulu kamaze okumera lekerawo okaliisa n‘ekirungo kya nitrogen.
Ebitonde ebyonoona ebimera.
Osobola okuziyiza ebitonde ebyonoona ebimera nga ofukirira bulungi akatungulu n‘okuggyamu omuddo ogwonoona ebirime. Envunyu ezijja mu butungulu zisobola okuziyizibwa nga obikka olusalosalo nakatimba era otuume ettaka ku mabbali. Zikebereko buli kadde okukakasa nti ebimera tebirumbiddwa bitonde bibyonoona era ggyako ebibadde byeyambisiddwa mu kubikka kuba ebiwuka byettanira nnyo ebintu ebivunze.
Okukungula akatungulu.
Nga obutungulu bukuze, kungulu bufuuka bwa kyenvu era butandika okutondoka. Noolwekyo kendeeza ettaka eryetoolodde akatungulu kasobole okukala obulungi. Kozesa engalo okukulayo akatungulu akaba kamulisiza oba nga kafuuse akakittaka.
Ebikoola bwe biba bitandiise okweweta biba bituuse okukungulwa era kuno kukolebwa mu budde obuweeweevu
Obutungulu obutuuse okuliibwa buba bumyufu n‘akakuta aka kakobe era nga kaweeweera.Wano buleke bukale okumala wiiki eziwerako nga tonaabutwala ku butereka.