Nga emu ku nkola ezongera ku buwangazi bw’obutonde, enima y’ekintabuli ekolebwa olwebirungi byerina.
Engeri enima y’ekintabuli gyelongosa embeera y’obutonde, eyongera ku bungi bwebintu ebiramu mu kifo, eyamba mu kukuuma ettaka n’amazzi, eyongera n’ekumutindo gw’embeera z’ebisolo wamu nokwongera ku bungi bwebikungulwa nolwekyo kikolwa kirungi okukola ku faamu.
Enima ey’ekintabuli wamu n’ebika byayo
Kwekulima mu miti era kubamu okulimira mu nimiro ez’omuddo okusubola buli kimu okufuna mukinakyo.
Mu ngeri yemu, ebika by’enuima y’ekintabuli mulimu emiti-nobuluzi muno nga tulundira mu miti, emiti-nokulima nga mulimu okusimba emiti nga bwolima mu kifo kyekimu. Ebika ebirala mulimu emiti-obulimi-obulunzi wano nga osimba emiti nga bwolima ebimera ngate olunda, obukomera, ebisulwamu wamu nebikwata amazzi, okulima emiti sako n’obulimiro bw’awaka.
Ekisembayo, emigaso mulimu okukungula ebintu ebyenjawulo, okwongera ku mbeera y’ebintu ebiri wansi womuti, okukuuma amzzi, okutumbula ku bungi bwebitonde wamu n’okutumbula ebyobulamu by’ensolo. Wabula, ebibi mulimu emiti okukula empola, abalimi obutaba n’abukugu wamu nokulwanira ebiriisa.