Ebiwuka by‘ebibala bye biwuka , ebikosa ennyo ebibala n‘enva endiirwa ne kireeta okufiirizibwa eri abalimi b‘ebibala n‘abasuubuzi. Kino kisobola okwewalibwa okuyita mu nkola enteeketeeke ez‘obulimi.
Ebiwuka by‘ebibala bibiika wakati w‘amagi 100 ku 1000 okusinziira ku buwangaazi bwazo kuba zisobola okubuuka okuva mu faamu emu okudda mu ndala ne kireeta obukosefu obwa amaanyi eri abalimi b‘ebibala. Ebiwuka ebikazi bikozesa akabina akasongovu okuteeka amagi mu kibala ekireeta amabala amaddugavu n‘agakitaka kungulu. Oluvannyuma lw‘ennaku bbiri amagi gaalulwa ne gafuuka envunyu wamu n‘okunogoka kw‘ebibala ebiwuka gye bikoma okukula. Oluvannyuma lwa wiiki emu ebiwuka biyingira ettaka, ne bifuuka ebikalappwa ebya kitaka mu wiiki eddako era mu kusembayo ebiwuka by‘ebibala ne bijja.
Okwekennenya ebiwuka by‘ebibala; Okunogoka kw‘ebibala ebitannayengera, kebera ebifo ebiwuka mwe byekungaanyiza n‘okulambulanga ennimiro buli kaseera okumanya okubeerawo kwazo.
Okwewala ebiwuka by‘ebibala
Okutega ennyo, kuno kutega ebiwuka by‘ebibala ebikazi n‘ebisajja, osobola n‘okufuuyira ekirungo ekikwata ebiwuka ekitabikemu eddagala erifuuyira ebirime, kozesa ekirungo ekikwata ebiwuka ebisikiriza n‘okutta ebiwuka by‘ebibala okuziyiza ebiwuka okubiika amagi mu kibala.
Okwongerako, kuuma ebiwuka eby‘omugaso, bino bigoba ebiwuka by‘ebibala. Kungaanya ebibala ebirina obuwuka obiziike okwewala envunyu okufuukamu ebiwuka. Saanyaawo ebibala ebivundumu katale buli ssaawa, kino kigendererwa okwewala obukosefu obulala ku bibala okukendeeza ku kufiirizibwa.