Ekirime kya kasooli kisobola okukosebwa ebitonde ebyonoona ebirime nga namujinga ekikosa amakungula. Enkola esindiikiriza oba esikiriza erina engeri y‘okuleetamu omugatte gw‘enkola ez‘enjawulo mu kutangira ebitonde eby‘onoona ebirime.
Ndiwulira abiika amagi ku bikoola agayalulwa mu nnaku nnya ku munaana okufuuka obusaanyi. Obusaanyi butandika okulya ebikoola kwe bwayalulwa. Bitambulira mu langi enjeru ne kitaka alimu olwa kyenvu n‘omutwe gwa kitaka omumyukirivu n‘ebikuubo bina ku mibiri gyabyo. Obusaanyi buyingira munda mu kirime okulya n‘okukyonoona. Obusaanyi bufuuka namatimbo oluvannyuma lwa wiiki bbiri ku nnya era ne bifuuka ndiwulira mu nnaku bbiri ku kkumi na bbiri. Ebiwojjolo bikola nnyo ekiro ne biwummulira ku birime emisana.
Okutangira ndiwulira
Enkola esindiikiriza oba esikiriza, eziyiza ebiwojjolo okulya kasooli n‘okutangira emiddo egiteetaagibwa era oluvannyuma ne guweebwa ensolo. Simba kasooli mu mabanga ga fuuti bbiri wakati mu nnyiriri ne desmodium wakati w‘ennyiriri za kasooli okugezesa enkola esindiikiriza oba esikiriza. Desmodium kireeta eddagala eritta ebiwuka ebikosa ebitonde ebyonoona ebirime. Ebiwojjolo bisindiikirizibwa okuva mu kasooli. Wabweru w‘ennimiro ya kasooli, simba ebisagazi okusikiriza ebiwojjolo okuva mu kasooli olwo bibiike amagi ku bisagazi.