Lwanyisa kayongo osobole okufuna amakungula amalungi. Omwemba n‘obulo bikulira mumbeera yonna keebe yabugubi naye kayongo kyekizibu ekisinga eri ebirime kuba alumba emirandira gyebirime bino negunyunyutamu amazzi n‘ebiriisa.
Kayongo
Kayongo muddo munyunyunsi gumulisa ebimuli bimyufu. Mubukiika ddyo ne mumaserengeta gafirika ate amulisa bimyufu mu kitundu by‘africa ebirala. Kayongo azaala ensigo nnyingi. Kayongo akulira kuttaka ebbi riweddemu obugimu. Edda abalimi balekangawo ettaka lino n‘ebafuna eppya naye kati tekikyasoboka.
Okwanganga kayongo
Osobola okukozesa enkola ssatu okulwanyisa kayongo ate ozigoberere okutuusa nga omuwangudde. Bwogoberera enkola zino emyaka egiddiringana toliddamu kulaba kukayongo.
Kozesa nnakavundira . Nakavundira afuuka ettaka erinyogovu era eggimu. Enkola endala yeyokozesa ebigimusa ebya langi kubuli lusozi. Bwokola entuumo yettaka osobola okweyambisa ebigimusa ebyeru. Enkola eno yabbeyi mu ko, kuba ekigimusa kigula sente. Osobola okusimba nga otabulamu kawo. Osobola okusiga ennyiriri bbiri eza kawo mumassekkati g‘omuwemba n‘obulo. Kino kijja kubiika ettaka kirigimuse atte kigobe n‘ekayongo.
Gezaako bulogyo okugya kayongo munnimiro. Mwekolemu bulungi bwansi ngekitundu kuba kayongo asobola okuva ewamulirwana nadda ewuwo.