Endabirira y’ebikungundwa
Mu kusooka, singa lumonde aba teyajjanjabibwa mu nnimiro nga tanakungulwa, omulimi alina okubikka entuumu ya lumonde omupya akunguddwa n’amalagala mu kasikirize okumala ennaku ssatu nga tanaterekebwa. Kwata lumonde n’obwegendereza mu biseera by’omukungula olina era okumubikka ng’ali mu kasana mpozzi ateera n’okumutereka mu kinnya ekirina amaddaala wabweru oba munda mu bbokisi.
Mu kinnya ekirimu amaddaala, londa ekifo ekirina ekisikirize ku ttaka eggulumivu obulungi ewatatuuka bisolo n’akasaasiro. Kunganya emiti egiyimiridde obulungi egiweza obuwanvu bwa 100cm, emiti 6 egya 80cm n’emirala 8 emiwanvu nga gya miita 2 buli gumu n’essubi okubikka akasolya waggulu.
Mu ngeri y’emu, sima ekinnya ekiweza obuwanvu bwa 25cm okukka wansi, cm 25 endala n’obugazi bwa 100cm okuva ku ddaala erisooka wansi ku ntobo y’ekinnya n’endala cm 25 mu buwanvu ku bugazi bwa 50cm wansi ku ntobo y’ekinnya okirekemu okumala ennaku ntono nga tonaba kuteekamu lumonde. Zimba akasolya nga kewunzise okawunvuyizaako miita 1 mu maaso n’emabega okawanvuyeko 80cm ewali empewo era onoonye lumonde w’okutereka ataliko buvune bwonna , eyajjanjabwa n’eya wolera mu kisikirize.
Okwongerezaako, kunganya obulobo obujjudde omusenyu 35, ogukaze bulungi era oguleke guwole okumala ennakunga tonaba kugweyambisa kubanga omusenyu omuwewevu guviraako lumonde okujja emitunsi n’okuvunda. Teekayo omutendera gw’omusenyu mu ntobo y’ekinnya gwa 5cm oluvannyuma oteekeko lumonde wabula talina kukona ku mulala era obikkeko omutendra gw’omusenyu omulala gwa 5cm era ozeeko lumonde n’omusenyu olwo oddemu ekikolwa kye kimu paka ng’otuuse ekinnya wekitandikira.
Mu ngeri y’emu omuntu ayinza okweyambisa akasisira akazimbiddwa mu bulooka z’ettaka n’oluggi munda okuziyiza ensolo okuyingira. Ng’ofuba okulaba nti kasisira kayingiza bulungi empewo, ekisenge ky’ennyumba kibeera n’oludda olumu nga lukoleddwa mu bipapula oba nga bizimbiddwa mu nsonda.
Zimba bbokisi ya miita emu ng’okozesa amabulookag’ettaka n’ebisenge ebirina obuwanvu bwa 50cm ne 75cm nga kirina obunene bwa 15cm. Leka ebbokisi ekkalira ddala oluvanyuma ojjuze ebbokisi erimu omusenyu ne lumonde.
Faayo nnyo okukebera ebbugumu mu bbokisi y’omusenyu buli luvanyuma lwa wiiki 2 era singa efuna ebbugumu oba nga erina ekisu ekibi, ggyamu lumonde amangu ddala ne lumonde alwadde.
Ng’omalirizza, ggyamu emitunsi oddemu oppakire lumonde nga bwewakoze mu kusooka.