Okwetolola ensi, buli mulimi ayagala kukungula kisinga okuva mu birime ebyenjawulo nga alimira mu kifo ekitono nga kino kivaamu kufunamu magoba amangi nolwekyo okutandika okutabika ebirime kirina okutwalibwa nga ssi kyakusaaga.
Okusooka muwoga asobola okulibwamu ebijjanjaalo, soya, ebinyebwa, kawo, emere ey’empke , emere ey’emirandira. Nga otabika ebirime, ensasana y’omuddo ekendera n’ekikendeeza ku bwetavu bw’okugulwanyisa.
Byotunulira nga otabika ebirime
Enkola ey’okutabika enkendeza ku kukenderza kw’amakungula ga muwogo era lumonde avaamu omuwendo oguera.
Okweyongerayo, byotunulira nga otabika ebirime, byombi birina okuba nga biva mu lulyo olutakosa lulala, okukuuma obugimu mu ttaka wamu n’okubisimba mu ngeri enungi byombi nga ebikolo osimba ebisaniide. Ekyamazima bwosimba ebitakwatagana bikendeeza bukendeeza amakungula , omulimi alina okumanya ettaka lye oba lyetaga okugimusa era bwekiba bwekityo, nakavundira alina okutekebwamuokusooka mu buli ttaka bbi nga tonasaamu bigimusa birala.
Okwongerako obugimu bw’enimiro obulabira ku ngeri ekirime ekivudewo bw’ekikoze. Wabulamu ttaka egimu ekisamusamu tekamu ensawo 8 eza kilo 50 buli hactare nga ozawulamu emiteeko nga ensawo 4 ozitekamu nga osimba ate 4 nozitemaku mu wiiki 3 nga omazze okusimba.
Okutekamu obulungi ebigimusa, balirira kyosamu n’ekyofunamu ku kigimusa nga tonakikozesa. Tekamu NPK ku 15cm okuva ku kikolo mu nimiro omuli amazzi.
Bwoba osimba ebirime eby’enjawulo, sima ebinya bya mabanga ga 1m osimbemu muwogo ku ngulu nga emiti ogisimba buwanvu oba nga ogisulirisemu nga newakati w’ebikolo walieo 1m. Bwoba osimba wewale okuziika n’okugalamiza emiti kubanga kino kigirwisawo okumeruka era nokwongera okulwanagala mu birime.
Ekisembayo simba amalagala ga lumonde ku ttaka ly’okungulu ku kinnya wakati wa muwogo nga gali 50cm okuva ku kikolo kya muwogo. Wabula, ebirime byombi birina okusimbibwa ku lunaku lwelumu okwewala okulwanira okusana nga bito.