Okukusunsula omuzigo
Ekisooka, kakasa nti oteeka akatimba mu kifo ekisunsulibwamu singa kiba kiriraanye ekiraalo okwewala enswera era longoosanga ekifo ky’okoleramu nga tonnatandika kukola. Mansira amazzi ku ttaka okwewala enfuufu era kakasa nti ogoberera emitendera nga okola okwewala obukyafu era ebikozesebwa oba ebikoleddwa tobiteeka butereevu ku ttaka wabula biteeke ku bintu ebigulumivu.
Okufaananako, yambala engoye ennyonjo era onaabe engalo ne ssabbuuni n’amazzi nga tonnatandika kusunsula era weekenneenye amata agakuweereddwa okebere olunnyo n’ebbugumu okukakasa nti malungi okusunsulibwa. Nga tonnasunsula, longoosa bulungi ekikozesebwa okuleetera amata okukwata (coagulant) era okozese amazzi amayonjo okukenenula wabula toteeka ngalo mu mukebe okukebera amata nga tozinaabye na ssabbuuni.
Yoza ebintu byonna oluvannyuma lw’okusunsula mu mitendera esatu ng’oddamu n’onyumunguza, ng’oyoza n’amazzi agalimu ssabbuuni n’onyumunguza n’amayonjo. Kozesa bbulaasi okukuuta ebisero by’embaawo era ekisembayo yanika ebintu byonna nga tonnabitereka.