Obungi n’omutindo gw’amakungula g’emmere bisinzira ku kika kya tekinologiya ekikozesedwa mu mitendera gy’okulima.
Ng’amazzi bwe gayamba mu kutambuuza ebirungo mu birime e kiyamba mu kukula,emirandira giyingiza amazzi okuva mu ttaka n’ensigo nazo zeetaaga amazzi okumera. Ebimera bikola nga engabo okuva eri obuwewevu obususe n’ebbugumu.
Emitendera gyokufukililamu ebirime
okusokera ddala okufukirira ebirime okwesigama ku kikka ky
ettaka era okufukirira kusinzira ku sizoni ,Amazzi g’okufukirira gavva mu biddiba,ku nzizzi,mu nnyanja,mu biyiiriro ne mumigga.Era gatuusibwa mu nnimiro nga tweyambisa ensolo oba omuntu.
Enkola y’okufukirira ey’ekinnansi mulimu eyitibwa pully system,chain pump,dhekli nendala nnyiingi .W’okozesa enkola y’okufukirira eyitibwa pulley,amazzi wanno gakubwa nga weyambisa ekyuma ekiyitibwa pulley era ne gatuusibbwba mu biffo ebyenjawulo mu nnimiro ng’oyambibwako omuntu.Wokozesa enkola ya chain pump,wanno akalobo kasibwa ku mipiira gisikibwa olujjegere era wegyekyusa amazzi gagenda mu kalobo.Akalobo olwo nekayiwa amazzi emipiira wegidayo olwp amazzi negasobola okutuuka mu nnimiro mu ngeri y’omuwaatwa oguba gukoleddwa omuntu.
Mu ngeri yemu,enkolaeyitibwa dhekli,yetaaga abantu 2 ebisitulwa okusobola okukuumibwa ku ttabi eriteekebwa ku muwaatwa amazzi wegayita okutuuka mu nnimiro.Ate enkola eyitibwa rahat,emipiira 2 gyetaagibwa ng’ogumu guyungiddwa ku kalobo. Ekitundu ky’akalobo kiteekebwa mu mazzi ekirala kungulu ku ttaka nga kusibiddwa ko akatti akatono obukiika.Okwetolooza akatti kutambuza emipiira era omupiira oguba mu mazzzi guyamba okussa amazzi mu kalobo okutuuka ku lukalu.
Mu kukomekereza,enkola y’omuwaatwa etambuza amazzi ku mu biffo by’ennimiro eby’enjawulo.