»Enkumbi eyeyambisibwa okumenyamenya amafunfugu nga yetoloolas.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/clod-breaker-rolling-harrow

Ebbanga: 

00:13:35

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Shanmuga Priya
»Enkumbi emenyamenya amafunfugu ekolebwa mu muti omwetoloovu n‘obuma obuwanvuyirivu. Esobola okusikibwa ensolo oba omuntu omukulu nga ogivuga mu nnimiro yo mu bifo ebitundu eby‘enjawulo ekiyamba ettaka okugonda mpozzi n‘okuyingiza amazzi agawerako.«

Gyokoma okukozesa ebigimusa ebikolerere n‘eddagala eryeyambisibwa mu kutta omuddo byongera okwonoona ettaka n‘okutta obuwuka obw‘omugaso mu ttaka. Enkumbi ziyikula ettaka nnyo eggimu ne lidda wansi olwo eritali ggimu ne lidda waggulu olwo ettaka ne likattira bulungi.

Mu ngeri eyo ettaka lyonoonebwa ne litandika okukaluba ekivirako emirandira obutawaganya mpozzi n‘ebimera obutameruka bulungi. N‘olwekyo enkumbi yeyambisibwa okukuba amafunfugu nga egamenyamenya okufuuka ettaka.

Emiganyulo gy‘enkumbi emenyamenya amafunfugu.

Enkumbi esibibwa ku nsolo nezikozesebwa okumenyamenya amafunfugu okufuuka ettaka. Zirima paka mu buwanvu bwa 15 cm zokka era tezikozesa mafuta ekibeera ekirungi eri obutonde.

Enkumbi emenyamenya eyinza okukozesebwa okutegeka emmerezo n‘ennimiro ku kika ky‘ettaka kyonna n‘ekimera kyonna ku ttaka eritalimiddwa oba oluvanyumya lw‘okuliteekateeka. Ettaka erirana ekikula ekirungi liba n‘obutuli obutereka amazzi obulungi ageyambisibwa mu kukula kw‘ebimera.

Enkumbi emenyamenya eyembako obutamala budde n‘amaanyi mu kulabirira ebimera ebitetaagibwa mu nnimiro kubanga bibeera bitukibwako akasana kangi ekibiretera okufa .

Kola enkumbi emenyamenya amafunfugu.

Eno ekolebwa mu muti omuggumu endoddo ey‘ekipimo kya esalibwa mu bugazi nga mu buwanvu ya mita 1 era ekikuta kigyibwako n‘ekolebwa bulungi.

Ebiti ebiseteevu obulungi bibiri bisalibwa nga birina obukwafu bwa 8cm n‘obuwanvu bwa miita 1, ekiti eky‘omu makati kisalibwa mu bugazi bwa 2cm ku 4 n‘obuwanvu bwa 5 ku 10 cm. Obubaawo obukoleddwa gye busembera teekako akuma akalina obugazi bwa 5 ku 3 cm mu bunya obunene obutekeddwamu okusobola okukiyamba okwetoloola obulungi .Teekako endoddo ez‘enjawulo nga ziweza obuwanvu bwa miita 2 n‘ebbanga lya 8 cm mu makati okusobola okugattibwa awamu.

Enteekateeka y‘ettaka

Enkumbi emenyamenya ekozesebwa abantu babiri oba ennume bbiri nga zisika ekiti wabula kulina okubako atudde ku kiti. Wano osobola okugikozesa wakati w‘emirundi 4 ku 6 olunaku mu mmerezo yo mu bifo eby‘enjawulo.

Okuteekateeka ennimiro vuga enkumbi eno wakati w‘emirundi 3 ku 5 mu nnimiro okuva ku ludda olumu okutuuka ku lulala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:20Okukozesa nnyo ebigimusa ebikolerere n‘eddagala erifuyira byonoona ettaka n‘okutta ebiwuka eby‘omugaso mu ttaka.
01:2102:48Ebyuma ebyamaanyi bippakira ettaka n‘ekisobozesa ebimera okumeruka obubi. Amafunfugu gakubibwa n‘engalo nga bakozesa ebinyuma ebitonotono.
02:4903:30Enkumbi eyetoloola emenyamenya amafunfugu n‘egagonza ettaka.
03:3104:39Enkumbi emenyamenya ettaka ekozesebwa ku ttaka eritalimiddwa oba ku ttaka eriteekateekeddwa obulungi kino kiyamba obutamala biseera bingi n‘amaanyi mu kuziyiza ebimera ebiteetagibwa mu nnimiro.
04:4005:34Enkumbi emenyamenya ebifunfugu ekolebwa okuva mu miti egyamaanyi n‘efulibwa enetoloovu
05:3506:39Ekituli kikolebwa n‘emutekebwamu ebyuma bibiri mu makati okusobozesa ekiti okwetoloola obulungi. Wano ekiti kiri kiteekebwa mu obuuma nga bwenkanankana.
06:4007:48Embaali eziseteddwa mu biti bitemebwa ku nkomekerero olwo nekuteekebwako akabati n‘olupiira ku kiti n‘omusumaali ku nkomerero
07:4908:35Endoddo biri zisalibwa era neziteekebwa mu kanya olwo nesalibwa.Emisumaali egy‘enjola gyeyambisibwa okugatta ensonda zonna.
08:3609:25Ekkoligo likolebwa nga bakozesa endoddo n‘ekituli ku nsonda zonna. Awokutuula wakolebwa nga basala olubaawo nebaluteeka ku ndoddo enseetevu. obulungi
09:2610:19Enkumbi emenyamenya esobola okukozesebwa emikono oba ennume bbiri.
10:2011:17Enkumbi emenyamenya evugibwa okuva ku ludda olumu okudda ku lulala.
11:1813:35mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *