Ensigo ya soya ekunguddwa obubi n‘eterekebwa obubi egwamu obusobozi bw‘okumeruka, ensigo embisi n‘eziwumbye zivunda nga ziterekeddwa. Enkungula ennungi,enkaza,okuwewa,ensunsula n‘entereke ky‘ongera obuwangazi bw‘ensigo.
Obukuku ye mulabe asooka owa soya.
Okuwewa & okaza
Bulijjo kungula soya nga ebikoola bikyuse nga byakyenzu oba nga ensigo mubisusunku zinyenya:Saala era ttuma ekirime kya soya munimiiro okumala ennaku kumi n‘oluvanyuma kyusakyusa entumu buli luvanyuna lw‘enaku saatu okusobozesa eminyololo n‘ensigo okukala obulungi.
Yawula ensigo okuva mubisunku ku tundubali eliyonjo naye tokozesa manyi mangi nga okuba saya nanti kino kyandiyasa ensigo.Wewa soya okujamu ebikyafu. Sunsulamu ensigo emenyefu n‘enkukukubanga tezimeruka bulungi.
Kaza ensigo mukifo ekiyonjo okumala enaku 2-3, wabula kumira amaaso ku soya nga akyali muniiro n‘ekukifo ekikazibwamu okuziyiya ensolo okwonoona soya nera totambuza nga nsigo munkuba engeri jyekiri nti kisula omutindo.
Entereka
Tereka ensigo mu nsawo eyitibwa (jute bags) osobozese ebugumu munsigo okufuluma amangu ela mubwangu osibe bulungi ensawa okuziyiza emisonso, emesse okwonoona soya. Togatamu kintu kyona mu nsigo eterekebwa. Teka ensawo omutelebwa ensigo ku mbawo mu sitoowa eyisa empeewo obulungi okuziyiza obuwewevu obw‘adivirako obukuku bw‘ensigo.s