Enkwata y’esamba ly’ebinazi-Okusalira

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_D1kTrXwkS8&t=9s

Ebbanga: 

00:12:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Oil Palm TV
»«

Okusalira ebinazi mubamu okugyako ebisansa okusobozesa omuti okufuna omusana. Era omuti gw’ebinazi okusalidwa  obulungi gulina okuba nebikoola 30 ku 60. 

Okwongerako okusalira ebinazi kisobozesa ekitangaala okuyitamu nekifuula,  amanyi, amazzi okufuuka emere ya carbohydrates. Okwongerako, okusalira ekinazi kyamugaso kuba kiyamba okugyamu enfuufu, ebyononese wamu n’ebisansa ebikadiye , kyanguyiza mu kunoga era nokwongera ku makungula. Buli lwoba onoga kakasa nti wesabika mu bintu nga magetisi, giravu ne galubindi. 

 Engeri z’okusalira

Okusalira ebinazi ebito nga tonakungula, muno mulimu okugyako ebisansa ebya wansi okwanguya okunoga. 
Enkola eyokuza obujja, wano ekinazi kiba tekisalirwangako okuyita mu mwaka, wabula enkola eno ekooya. Okugattako, kino kirina okukolebwa nga sizoni ey’amakungula amangi tenatuuka okusobola okufunako ennyo. 
Enkola eyokulabirira, kino kikolebwa buli myezi mukaaga era ebiseera ebisinga emirundi ebbiri mu mwaka. 

 Ebintu ebikolebwa

Wewalenga okugyako ebisansa ebyakiragala ebiramu ku kinazi eky’emyaka 3 -8 okuva lwekyasimbibwa. Era ku myaka 5-7 sigazako ebisansa 40 -48  ate waggulu w’emyaka 15 sigazako ebisansa 40 nga buli wansi wa kirimba waliyo ekisansa kimu ekiramu. 
Ekisembayo bwoba onoga ebinazi kakasa nti okozesa ebikola ebituufu okugeza akayuya akasala, omuti omuwanvu, ebisala era bwomala okunoga, tema ebisansa era obileke bivunde, kino kyongera ku biriisa mu ttaka nekyongera ku makungula. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:31Ebikolebwa mu kusalira emiti gy'ebinazi n'endabirira y'amatabi.
01:3202:00Ebisansa byongera ku makungula, ekinazi ekirungi kirina okuba n'ebisansa 30-60.
02:0103:05Endabirira embi ey'ebisansa ekalubya okukungula era nekikendeeza amakungula.
03:0603:31Ebirungi byokusalira; okugyako enfuufu, ebyonones, ebirwadde wamu n'ebisansa ebikadiye, kyanguya okunoga wamu nokwongera ku makungula.
03:3204:15Ebyambalo ebisabika omubiri; magetisi, giravu ne galubindi. Ebikola mu kunoga; akayuya akasala, omuti omuwanvu n'ebisala.
04:1605:09Engeri z'okusalira; okusalira ebinazi ebito nga tonakungula, muno mubamu okugyako ebisansa ebisemba wansi.
05:1006:02Enkola eyokuza obujja, wano ekinazi kiba tekisalirwangako okuyita mu mwaka.
06:0306:29Okukungula, tema ebisansa obireke bivunde, kino kyongera ku bugimu mu ttaka.
06:3007:26Enkola eyokulabirira, kino kikolebwa buli myezi mukaaga era ebiseera ebisinga emirundi ebbiri mu mwaka.
07:2707:45Togyako bisansa biramu ebya kiragala ekinazi bwekiba mu myaka 3 -8 okuva lwekyasimbibwa.
07:4608:04Ku myaka 5-7 sigazako ebisansa 48-56 ku buli muti gwa kinazi nga olekako ebikoola 2 ebiramu wansi wabuli kirimba.
08:0508:37Ku myaka 8-15 sigazako ebisansa 40 -48 ate bwegusuka emyaka 15 sigazako ebisansa 40 nga kuliko ekisaansa kimu ekiramu wansi wekirimba.
08:3812:14Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *