Ennima y‘ebijanjaalo tefuna nnyo olw‘endabirira y‘ebirime embi, ettaka obutabeera ggimu, ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, ensigo ezitali ku mutindo. Okukozesa enkola ennungi kiyamba okwongera ku makungula.
Mu kulima ebijanjaalo kikulu okubitabika n‘ebirime ebirala okwewala ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde era okuule omuddo oguteetaagisa nga bimulisa kuba ebimuli biyinza okugwa.
Okusimba n‘endabirira
Londa ettaka eggimu, eririmu amazzi agamala weewale ebifo eby‘entobazi n‘eby‘olusenyu bisobole okukula obulungi.
Londa ensigo eziri ku mutindo nga za kika kimu ate tosimba nsigo y‘emu mu sizoni ssatu okukuuma omutindo.
Kabala ettaka wiiki bbiri ku nnya mu biseera by‘enkuba era osimbe mu biseera by‘enkuba kubanga ettaka liba lirina amazzi ag‘okukuza ebijanjaalo.
Ziwe amabanga ga 45cm wakati w‘ennyiriri ne 20cm wakati w‘ebirime ne 60cm wakati w‘ennyiriri ne 15cm wakati w‘ebirime ng‘okozesa ente ezikabala ensigo bbiri buli kinnya.
Teekamu ebigimusa era obitabule bulungi n‘ettaka okufuna amakungula amangi.
Ggyamu omuddo oguteetaagisa wiiki emu ku bbiri oluvannyuma lw‘okumeruka n‘oluvannyuma lwa wiiki ssatu okukendeeza ku kuvuganya olw‘ebirungo.
Kungula ng‘eminyololo teginnawotoka era oyawule ebikalu n‘ebyakiragala okwewala okufiirizibwa.
Ebikolebwa oluvannyuma lw‘okukungula
Bikube mpolampola ku nntundubaali era oggyemu ebisaaniiko okufuna ebijanjaalo eby‘omutindo.
Wewa okuggyamu ebikyafu.
Sunsula okuggyamu ebifufunyadde, ebirwadde era okakase nti eby‘enjawulo biri ku mutindo.
Sunsula okusinziira ku langi, obukosefu, ebiteetaagisa, ebiwuka n‘ebitonde ebyonoona ebirime, ekisu.
Ensigo ziteekeko eddagala erikkirizibwa ku doozi entuufu, biteeke mu kaveera era obikuumire mu kifo ekikalu ate nga kiyonjo okubyewaza ebitonde ebyonoona ebirime.