Okusingira ddala sapota alimibwa olw‘emigaso gy‘ekibala ekivaako n‘okufuna gaamu akobwamu obiti.
Mu kulima sapota temuliimu kusimba nsigo mulimu,omuli okugatta emitti egy‘ekika ekirala,n‘okusimba ensimbo.Ekimmera kino osobola okisimba n‘ebitooke,amappapaali,ennanansi,bikoko, ebijanjaalo ebiyitibwa fresh beaan,peya ,ennyannys n‘emboga.
Enteekateeka y‘ettaka.
Mu kuteekateeka ettaka,likabaale emirundi ebiri kw‘essattu ku buwanvu bwa 45cm mu kabanga ka mita 10 ku 10 awo olyoke olyenkannye era olyawule mu olusalosalo.Simba emitti egiziyiza empewo mu kabanga ka mita 1.5 ku 1.8 mu nnyiriri.
Ttema ebinnya bya kipimo kya 90cm era obireke okumala wiiki 2 ku ssattu.yawula ettaka erisooka ku limyufu.Buli kinnya kijjuze ettaka erisooka n‘ettaka erimyufu eritabuddwa mu nakavundira ava ku faamu ne powuda ayitibwa lindane okusobola okugoba enkuyege.
Okusimba sapota
Simba emitti egigattiddwa mu kinnya era okakase nti awagatiddwa wali waggulu w‘ettaka.Jjako obuveera obukozeseddwa mu kusiba emitti egigatiddwa nga wayiseewo omwezi oluvannyuma lw‘okusimba okusobola okukendeeza ku mikisa gy‘omuti okuffa.
.Jjako emitunsi egiba gimeze okuva ku mirandira wansi w‘ennyingo awagatiddwa era ofukirire mu bbanga lya naku 30.Omuddo gulina okuggibwa mu .Salira ekirime kyo osobole okuyamba ebimuli okumulisa obulungi awamu n‘ebibala era kisobole okufuna ekitaangaala ekiva ku musana ekiwerera ko ddala.
Okukungula
Saapota amera ebibala nga wayise emyaka essattu oluvannyuma lw‘okusimba era osobola okozesa enggalo okuggyako ebibala oba n‘okozesa ebyuma ebikungula.Ebibala byakwegenderezza kyangu okubyonoona era bisobola okuterekebwa mu kipimo ky‘ebbugumu ekya bulijjo mu nnaku 7 ku 8.Mu katale ak‘ekinnansi,ebibala ebisunsuddwa biteekebwa mu bisero ebikolebwa mu mabanda binno ebisero eba biyamba ku kwengeza ebibala binno.
Leaf weber, hairy caterpillars bird worm, leaf spot, base heart and anthracnose are the common pests and diseases.