Ekimuli ekiyitibwa saffron kirimibwa mu biffo ebirimu enkuba ewera era nga kisobola okugumira obunnyogovu era kisobola okuzibwaa n‘okukwasibwa ku buli ttaka okujjaako eryo eririmu amayinja,omuddo,emitti ne mu nimiro z‘omuceere.
Ebimuli binogebwa okuva ku kiriime okuva mu mwezi gw‘omukaaga n‘ogwekkumi ettaka nga kkalu era tukozesa engalo olwo netumutereka mu kifo awatatuuka kitangaala kya musana.saffron asimbibwa mu ngeri y‘emu ngga akatungulu wekasimbwa era ekisimbwa kiba kibikiddwa ko emirandira era ekisimbwa wekitayawulwa oba nekigibwa mwe kikulidde awo ekirime kirwa wo okukula.
Ennima y‘ebimuli bya saffron
Okusobola okwewala obuzibu bw‘oyinza okusanga ngolonda ebimuli bya saffron,saffron musiimbe mu nnyiriri ezirina amabanga ga 5 to 10cm mu makati ga saffron n‘ekipimo kya sentimita 25 ku 30 mu makati g‘ennyiriri n‘ebigimusa ebikakkaasiddwa ebitaliimu muddo na mayinja buli luvannyuma lwa myaka 2 ku 3.Saffron gw‘ogenda okusimba mulongose omuggeko omuddo gw‘aba alina era oggemu oyo aba omulwadde.
Ekirime kya Saffron kikabalibwa mu buwanvu bwa sentimita 25 ku 30 era yiikula ettaka okusobola okwewala omuddo,okusobozesa ettaka ookutabulwamu ebigimusa n‘okukuuma obuwewevu okusobozesa endokwa z‘ekirime n‘ebimuli okukula mu bwangu okuva wansi.
Okukungula
Ettaka lirina okuba nga teririiko muddo nga okufukirira okusooka tekunaba.Okufukirira wekukolebwa mu kaseera akakyamu ekisibibwa kijja kuba kinafu ate n‘ebimuli biba bizibu okuggyako.Wekibaawo oluvannyuma ebimuli biyinza okusanga obuzibu.Mu ku kungula,byokozesa birina okuba eebiyonjo,enjala ngaa nnyonjo n‘enviri nga zibikiddwa ko. Ebikozeesebwa bilina okuba nga biyonjo ate nga biri ku mutindo.Ebimuli birina okunogwa nga omusana tegunavaayo era ne bitwalibwa mu kiffo webiterekebwa mu bisero ebiri ku mutindo.Awaterekebwa ebimuli bino walina okuba nga wayonjo,nga wategeke bulungi nga tewali kwonoona kwa mpewo era nga tewali na biwuka.
Okusunsula ebimuli
Mu kusunsula ebimuli bya saffron,ekimuli kikwatire mu mukono ogwa kono era osaleko ebimuli osobole okusigaza ekitundu ekisajja eky‘ekimuli(male stamen)Olwo kikaze ng‘okozesa ekyuma ky‘amasannyalaze oba obusengejja.Ekimuli wekimennyeka olwo kiba kikaze
Saffron asobola okozesebwa mu bifumbwa bingi,ebyokunnywa,mu silapus(syrups) era ne muddagala erisikiriza,era ayamba amu nkuba y‘emmere mu lubutto,mu kulongosa olubutto,nga ekimalaa wo okwennyikira,okuyamba mu kuwonnya enddwadde z‘omutwe,mu kussa,obutaba na tulo,obulwadde bw‘omutima ne mu bintu by‘okwennyiriza.