Waliwo ebika by‘emmwannyi bibiri kuliko,ekika kya arabica ne robusta.Emmwannyi ez‘ekika kya arabica zisimbwa mu biffo eby‘olusozzi ate ez‘ekikka kya robusta zisimbibwa mu biffo eby‘ekiko.
Emmwannyi zikula bulungi mu ttaka egimu eririmu amazzi agamala.Emmwannyi osobola okuuzisimba wamu n‘emitti oba amatooke bisobole okuwa ekisikirize eri emmwannyi ,omuddo osobola okugujjamu ng‘olima oba ng‘ogufuuyira.Endokwa ezirina obubonero bw‘okwengerera,nga nnafu era nga zilina enduli entono tezirina kozesebwa .Ttema ebinnya olwo osimbe emmwannyi nga weyambisa enkondo zisobole okuwanirira emmwannyi zo. Ebuwuka n‘obulwadde obusinga okutawaanya emmwannyi mulimu akayitibwa black twig borer,akayitibwa root mealybug,ne coffee wilt. Sigula yo ebitundu ebikoseddwa obyokye.
Okuleka amabanga mu mmwannyi
Mu kulima emmwannyi eza robusta ,amabanga agalekebwa wakati g‘enkondo gakolebwa ku kipimo kya fuuti 10 ku 10 okusobola okufuna emitti gy‘emmwannyi 450 ku yiika emu.Mu kuima eza arabica,amabanga ga kipimo kya fuuti 8 ku 8 osobole okufuna emitti 680 ku yiika emu.
Sima ebinnya bya fuuti 2 obugazi ne fuuti 2 obuwanvu era ettaka erisooka lyoba osa waggulu mu kinnya ate wansi tekayo ettaka erimyufu ekitono ennyo mu myezi 3 nga tonasimba.Ekinnya kijjuze ettaaka lya waggulu nga litabuddwa mu ebigimusa.
Okusimba emmwannyi
Fukirira endokwa nga tonasimba ne woba nga omazze okusimba.Nga wayiseewo emyezi mukaaga,ebimera biwunzike obitunuze omusana gye guva okusobola okutumbula enkula y‘enduli.Lekawo enduli 2 ku 3 ezifaanana obulungi okuvva wansi w‘ekirime era ozireke zikule.
Emmwannyi zisalire nga ziwezeza emyaka 7 ku 9,ttema ettabi ku fuuti 1 okuva ku ttaka eriri ku ndu enkulu eri ku buli kimmera buli mwaka era wunzikira ebbali omutti ososobole okwewala amazzi okulegama wosaze olwo oziyize okuvunda.
Okukungula n‘ekiseera ngomaze okukungula
Kungula emmwannyi ezengede zokka.susumbula emmwannyi mu saawa 12 nga okungula era ozitereke mu mukebe okumala esaawa 12 ku 24 okusobozesa okwewala okukaatuuka.
Yoza emmwannyi ezikaatuuse era ozikalize ku kitandaalo.Ku mutendera gw‘okuzikaza ziteeke wansi ewali enkokotto.
Emmwannyi ziterekebwa mu bisawo era nebiteekebwa ku bibaawo ebigulumivu ekitono ennyo mu fuuti 0.5 okuvva ku ttaka okusobola okuziyiza okuzitobya n‘okuziweweeza.