Okutandika okulima obutunda kyangu nnyo kubanga tebwetaagamu nnyo sayansi. Ekirala obutunda tebwetaaga kulabirira buli kiseera.
Obutunda bulimu ebika bina nga muno mulimu obwo obwa kakobe, obwakyenvu obukaluba obuyitibwa „sweet granadilla“ wamu ne wuju. Okwetangira endwadde obulungi mukulima obutunda sooka okune okuwabulwa kunima y‘obutunda okuva kubalimi bobutunda abagundiivu wamu nabalimisa mukitundu kyo. Obutunda bulumbibwa nyo ekirwadde ekiyitibwa „fungal“ nga kino kibabula ebikoola wamu n‘okuvunza endu y‘ekimera.
Emitendera Mukulima obutunda
Tandika okulima obutunda ng‘okozesa ensigo ezomutindo omulungi okuva mumatundiro g‘ebyobulimi agesigika. Ng‘omaze okusimbuliza obutunda endokwa zisiimbe ku ttaka eggimu ate nga teriregamamu nnyo mazzi.
Ekirala bw‘oba osiimba obutunda lekawo obugazi bwa mita ssatu ku satu okuva kukikolo ekimu okuda kukirala kubanga kino kiyamba ekimera okufuna ekiriisa ekimala olwo nekisobola okula obulungi. Kakasa nga ebimera bifuna ekitangaala ekimala kino kikendeeza kunsasana y‘obulwade obuyitibwa „fungal“.
Siimba endokwa z‘obutunda mukinya kya buwaanvu bwa fuuti satu okusobola okuwa akatunda ekifo ekimala okula obulungi.
Endabirira y‘obutunda
Kakasa nga okoola omuddo bulungi, wamu n‘okufukirira obutunda. Ekirala bika bulungi omuddo munimiro y‘obutunda olwo kibusobozese okula obulungi.
Akatunda bwekaweza obuwanvu bwa mita satu teekako akatimba akatunda kekanalandira obulungi olwo kasobole okuwa amakungula amangi.
Ffukirira bulungi obutunda wamu n‘okutandira endwadde bino biyamba obutunda obutaffa. Also irrigate fruits and control diseases to prevent passion fruit plants from drying.
Buli luvannyuma lwa nnaku 7 ku 14 fuyira obutunda ng‘okozesa eddagala etuufu okwewala endwadde wamu n‘obuwuka obulala obutataganya ekula y‘obutunda.