Amagezi agakwata ku kulima obutungulu n‘endabirira yaabwo byamugaso nnyo mu kufuna amakungula agawera.
Okulima obutungulu kutandiikira mu mmerezo. Okukola emmerezo y‘obutungulu wetaaga ettaka eddugavvu okusingira ddala .Tekamu nakavvundira woba omulina era omutabule bulunji. Nakavvundira alina okuba nga akuzze kubanga atanaba atta ensigo z‘obutungulu kubanga azokya.
Mansa ensigo era ozibike okumala wiiki emu, era oluvannyuma lwa jjako omuddo era ofukirire buli lunaku.Endokwa z‘obutungulu zitwala wiiki 4 ku 6 okuba nga zituuse okuzisimbuliza, okusinzira ku kiffo.
Okusimbuliza n‘endabirira y‘obutungulu.
Woba osimbuliza ,simba ebirime ku sentimita 10 okuva ku kimu okudda ku kirala.
Obutungulu butwaala emyezi 4 okukula, naye week essattu 3 ngatonakungula bwetaaga embeera omutali wadde nkuba.
Obuwuka obubeera ku bikoola by‘obutungulu bunno buyitibwa (thrips) bwe bukyasinze okuba obw‘obulaabe eri ennima y‘obutungulu era nga bunno bulabika nnyo mu biseera by‘ekyeyaa. kubanga bunno bubiika nnyo amaggi mu biseera ebyo..Okufukirira kusobola okuyamba mu kukendeza ku maggi ganno.
Obuwuka buno era busobola okuziyizibwa nga obufuuyira eddagala naye kinno kirina kolebwa olweggulo,
Obulwadde obuyitibwa Fungal downy mildew bwe bulwadde bw‘obutungulu obusinga.Buno buziyizibbwa eddagala erifuuyirwa. Eddagala eliziyiza likozese nga ekirwadde tekinalabika ate eriwonnya likozese nga obulwadde bumaze okulabika.