»Ennonda y‘ensigo eyokuzinnyika«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/node/3433

Ebbanga: 

00:06:37

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight, CABI, Countrywise Communication, IRRI, RDA, TMSS
»Lwaki tewembisa kakodyo kakunyika nsigo nga tonnaba kuzisiga? bwokozesa akakodyo kano buli nsigo mbi eyalumbibwa era nekosebwa ebiwuka ejja kutengejja kumazzi ereke ennamu kuntobo.«

Abalimi bwebatereka ensigo ya sizoni eddako, ebiseera ebimu babeera n‘ensigo nga zamutindo mubi olwokukosebwa ebiwuka n‘endwadde . N‘olwekyo bwonnyika ensigo zino wamu, enfu zidda kungulu, kakasa nga ozijjako osigaze ennamu .

Okwongera ku mutindo gw‘ensigo kyamugaso naddala ng‘oyagala okweyambisa ensigo ezizo. kyamakulu okutandika amakungulago n‘ensigo ennungi – ennamu. Okumanya nti ensigo yo yalumbibwa ebiwuka ne‘ndwadde, bwogulawo ekintu mwewatereka olaba ebiwojjolo nga bibuukamu era osobola okulaba obutuli bwebiwuka kunsigo. Ensigo ezirumbiddwa oba ezitayengedde bulungi zitera okuba empewufu bwogeragerana n‘ensigo ennamu era kibakyangu okuzejjako

Okwawula ensigo ennamu kunfu

Yonja ensigo ng‘owewa mukintu osobole okujjamu ensigo zonna ezirimu ebituli. Oluvannyuma teeka ensigo zino mu mazzi olabe ziriwa ezitabbidde n‘ebissusunku ko n‘enfuufu w‘ebiraze naye era tosobola kulaba nakwawula nsigo zikoseddwa ng‘ozitadde buteesi mu mazzi. Okusobola okujjamu buli nsigo nfu oyina okukozesa amazzi mangi .

Yonja kyogenda okunnyikamu (container) ensigo, era okijjuze amazzi. Bwomala gattamu omunnyo ne urea. Okumanya nti otaddemu ekimala ssamu eggi olabe oba nga litengejja ku mazzi .Ssaamu ensigo mumazzi gali agatabuddwa otabuze n‘engalozo. Kino bwekiggwa buli nsigo nfu etengejja ku mazzi. Ensigo ennamu zisigala wansi muntobo yeekyo kyonnyiseemu .

Jjamu ensigo enfu oziwe ebinyonyi. Bwekiggwa jjamu ensigo ennamu ozooze namazzi amayonjo emirundi ebiri kw‘esatu .

Osobola okulekawo amazzi agalimu omunnyo n‘ogeeyambisa okufukirira emiti gyebinazi. Amazzi gano bwegabaamu urea osobola okugeeyambisa ku mmerusizo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:26Ennyaanjula
00:2700:40Abalimi bwebeeterekera ensigo eya sizoni eddako, ebiseera ebimu babeera n‘ensigo ez‘omutindo omubi olwokwonoonebwa ebiwuka n‘endwadde endala.
00:4100:46Ensigo ezirumbiddwa oba ezitanayengera ziba mpewufu era kiba kyangu okuzirondamu.
00:4701:16Omanya nti ensigo erumbiddwa bwosanukula omukebe mwezaterekebwa, obuwojjolo bubuuka.
01:1701:22Yonja ensigo ng‘oziwewa.
01:2302:30Oluvannyuma osobola okussa ensigo mu mazzi nolaba ezitabidde kwossa enfuufu n‘ebisusunku.
02:3102:53Jjuzza amazzi mu container ennyonjo.
02:5402:59Olwo ogatemu omunnyo ne urea.
03:0003:08Womanyira nti otaddemu ekimala bwossaaamu eggi litengejja ku mazzi.
03:0903 :19Ssa ensigo mu mazzi ago olwo otabule n‘engalozo.
03:2003:26Buli nsigo nfu etengejja ku mazzi.
03:2703:38Ensigo ennamu zidda wansi wa container.
03:3903:50Osobola okuleka amazzi agalimu omunnyo mu container ey‘enjawulo.
03:5104:04Yoza ensigo ennamu emirundi ebiri ku esatu.
04:0504:14Jjamu ensigo enfu zonna oziwe ebinnyonyi byo‘lunda.
04:1505:25Weeyambise amazzi agalimu omunnyo okufukirira emiti gye binazi. Bwegaba amazzi go nga galimu urea osobola okugeyambisa ku mmerusizo.
05:2606:37Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *