»Ennunda y‘embuzi ez‘olulyo olwaddala mu mbeera eya buliijjo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=9_qPSnfm8iI&t=291s

Ebbanga: 

00:06:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hamiisi Semanda
»«

Ensolo ez‘olulyo olwaddala zivamu amagoba mangi ate zanguwa okukula okusinga ennansi naye abantu batya okuzirunda kuba balowooza nti nzibu nnyo.

N‘endabirira ennungi, embuzi zisobola okubeera mu mbeera zonna mu Africa n‘okusingira ddala mu Uganda. Embuzi ezirina olulyo olwaddala zisobola okubeera mu kiyumba kye kimu nga ennansi. Kino kiyamba omulunzi okulunda embuzi ez‘ebbeeyi mu ngeri ennyangu.

Endabirira y‘embuzi ezirina olulyo olwaddala

Kakasa nti oliisa bulungi ensolo ku mmere erimu ebiriisa okusobozesa ensolo okukula obulungi.

Nga olunda embuzi ez‘okutunda, kakasa nti ofuuyira era otta ebiwuka mu nsolo zo. Okufuuyira kulina okukolebwa lwakiri omulundi gumu buli wiiki wabula ate bwoba otta ebiwuka kikole lw akiri omulundi gumu buli luvanyuma lwa myezi essatu naddala mu mbuzi enkulu ate obubuzi buto tta ebiwuka waakiri omulundi gumu mu mwezi.

Gema ensolo nga ogoberera olukalala lw‘okugemerako era tolinda bulwadde kubalukawo nga tonaba kugema.

Ensonga enkulu

Nga otandiika okulunda embuzi ennansi, kikubirizibwa okubeeramu n‘ennume ey‘olulwo olwaddala okusobozesa obubuzi obuto okuba n‘olulo olulongosemu nga zirina ekikula ekirungi

N‘endabirira ennungi osobola okulunda olulwo lwonna olw‘embuzi eyinza okuba ennansi oba ey‘olulyo olwaddala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:50Embuzi ez‘olulyo olwaddala zikula mangu nnyo ate era zifuna nnyo okusinga embuzi ennansi
00:5102:59Embuzi ez‘olulyo olwaddala zisobola okubeera mu biyumba bye bimu ne nnansi.
03:0003:18N‘endabirira ennungi, embuzi zisobola okuggumira embeera yonna.
03:1903:40Kakasa nti oliisa embuzi zo n‘emmere erimu ekiriisa.
03:4104:03Ng‘olunda embuzi ez‘okutunda, zifuuyire, tta ebiwuka atera ozigeme.
04:0404:48N‘endabirira ennungi, osobola okulunda ekika kyonna eky‘embuzi.
04:4906:40Ng‘otandiika okulunda embuzi ennansi kikubirizibwa okubeera n‘ennume ey‘olulwo olwaddala.
06:4106:43Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *