Abalunzi b‘enkoko abasinga balunda wakati w‘enkoko ez‘amaggi oba ez‘ennyama naye abasinga bebuuza ziriwa ezireeta amagoba amangi.
Mundowooza okutandika awamu n‘okudukanya faamu y‘enkoko kirabika ng‘ekyangu naye eri abo abalunzi abasinga bagamba nti okutandika n‘okudukanya faamu y‘enkoko ez‘ennyama kyanguwa nnyo okusinga kunkoko ez‘amaggi. Okutandika faamu y‘enkoko ez‘ennyama wetaaga sente ntono ddala kubanga munkoko zino wetaaga okuziriisa okuva ku lunaku olusooka paka ku wiiki ey‘omukaaga era nga n‘abwekityo wetaaga eddagala tono, zino tezetaaga kulambula n‘akulabirira buli kiseera singa ogerageranya n‘enkoko ez‘amaggi ezetaaga ssente nnyingi okutandika, zetaaga emmere nyingi okumala emyezi ena nga tezinaba kutandika kubiika, era nga zetaaga ne ddagala lingi nnyo.
Okugerageranya enkoko z‘amaggi ne z‘ennyama
Mubyenfuna enkoko ez‘ennyama zisasula mangu okusinga kuzamaggi wabula enkoko z‘amaggi zireeta amagoba mangi eri abalimi okusinga kuzennyama.
Faamu y‘ennkoko z‘ennyama tezirumbibwa nnyo bulabe singa ogeragerannya ne faamu y‘enkoko z‘amaggi.
Amagoba agava kubuli nkoko yennyama gaba matono ddala wabula osobola okwongera kumagoba singa otandika okwaluza obukoko wamu n‘okwekolera emmere kufaamu mukulunda enkokokyongera kumagoba okusinga okwesigama kumatundiro gemmere y‘enkoko.
Engeri gy‘okozesa okunonya akatale ekola kyamanyi nnyo mukufuna amagoba mununda y‘ennkoko zamagi ne zennyama. Omulunzi w‘enkoko ayongera omutindo kunkoko ze okugeza gazitunda nsale kukatale afuna amagoba mangi okuva kunkoko z‘ennyama okusinga kwoyo atunda ezitali nsale. Okufuna amagoba amangi okuva munkoko wenonyeze akatale kenkoko zo mangu, tunulira sente zewasasanya kumere era nabwotyo wekolere emmere ey‘okulisa enkoko zo.