Ennyaanya zirimibwa mu sizoni waliwo lwezifuuka ez‘ebbula. Enkola y‘okukamula ennyaanya n‘omubisi kyongera obuwangaazi okutuuka ku mwaka gumu ate ngo‘mubisi guwangaala wiiki biri ku satu.
Ekisooka, naaba engalo bulungi, londa era oyonje ennyaanya okufunamu ennamu. Sala ennyaanya mu bibajjo bina bwomala ozifumbe mangu. Ffumba ebibajjo bno zikamuke kuba kino kikendeeza amazzi n‘obuwuka obuleeta endwadde okutuusa nga akakuta kavuddeko, wabula tojjuza ntamu bibajjo bya nyaanya kuba zisobola okubimba neziyiika. Oluvannyuma ssengejja ennyaanya okujjamu amazzi kuba zirimu ebirisa.
Ensengejja y‘emirundi ebiri
Ennyaanya ezifumbiddwa zisotte bwomala osengejje kwawula omuzigo okuva mubikuta. Oluvannyuma kola olusengejja olwokubiri nga okozesa akatimba nentamu biri. Kozesa entamu esooka okwawula omuzigo mu ntamu eyokubiri era bwomala omuzigo guteeke ku muliro okwongera ku buwangaazi. Okutta obuwuka obuli munda nekungulu wegiraasi zifuumbe mumazzi.
Tabula omuzigo buli kadde okutuusa omuzigo lwegufuna langi enkwaafu. Teekateeka eccupa ez‘okusaamu omubisi ngozifuumba mumazzi okusobola okutta obuwuka. Ffumba omuzigo ogutereddwa mu ccupa okumala essawa nnamba ozitereke munju. Ffumba ojiise omubisi okutuusa lwegwesera okutta obuwuka obuleeta endwadde era oguyiwe mu ccupa ezigemeddwa okuyita mumazzi agokya okusobozesa omubisi okulwaawo.
Saanikira eccupa era ozifuumbe okemala essawa emu era bwomala ozikuumuire mu nnyumba. Wewale okutereka eccupa mu kifo ekyokya kuba kino kyonoona omubisi n‘omuzigo.