Obulimi bwemiti buzingiramu obulimi wamu nebibira.
Okukwatagana wakati w’emiti nebimera kyongera obumu, ebyenfuna wamu nemiganyulo mubutonde. Obulimi bwebibira busengekedwa mumitendera esatu emikulu kwekugamba silvoarable, silvopastoral ne agrosilvopastoral. Omutendera oguyitibwa silvoarable mulimu okulima kwebimera nga bitabikidwaamu emiti, omutendera oguyitibwa silvopastoral mulimu obulimi bw’omuddo gwensolo wamu nemiti era n’omutendera oguyitibwa agrosilvopastoral mulimu obulimi bwebirime, emiti saako n’okulunda ebisolo.
Emigaso gy’emiti
Mubulimi bw’okukozesa eddagala n’ebigimusa okusobola okufuna ekingi, okutemebwa kwemiti kungi kyokka nga emiti giyina emigaso mingi nnyo eri ebirime wamu n’ebisolo. Nga emirandira gy’emiti gisemberayo wansi muttaka okusinga kwegyo egy’ebirime ebikulira mu mwaka gumu oba emidddo, amazzi ganguyirwa okuwaguza okutuuka mu ttaka ekiziyiza okulegama kw’amazzi era nokulugguka ekivaamu, okulugguka kwettaka kukenderezebwa ddala.
Emiti era gikuuma ebiriisa wansi muttaka ebitasobola kutukibwaako bimera. Kino kiziyiza okukka kwebiriisa mubigimusa okudda mumazzi agali wansi muttaka.
Obusaakaativu bwemiti bukola nga ebikwaata kibuyaga ekikendeeza kukufiirwa kwamazzi mu bbanga eri ebimera eby’etolode. Bino bikola nga ebisulo era byongera kubulamu bwebisolo.
Okutwaaliramu kwemiti mu bulimi kyongera kubitonde okubeera awamu era kiyamba okulwaanyisa ebiwuka eby’onoona ebirime nga tweyambisa obutonde okugeza okuyita mukusikiriza ebinyonyi ebirya ebisaanyi.
Emiti gisobola okugazi enfuna y’omulimi. Gisobola okukola kino okuyita mukuwa omuddo oguliisa ebisolo, emere okugeza nga ebibala n’ebikalapwa, enku wamu n’embaawo.