Muwoyo kyekimu kubimera eby‘emiti era nga mulufuutifuti ayitibwa „manioc“ okuva mulubu lwa „spurges“.
Muwogo wamugaso nnyo nga alimu ekirungo ekiyamba munkula y‘omubiri, asimbibwa ng‘okozesa biti by‘amuwogo era nga akulira bulungi ku ttaka ly‘ekisenyi. Bw‘oyiga okukola ensaano okuva mumuwogo kiyamba mukukendeeza kunyonooneka y‘amuwogo ng‘amazze okungulwa, nekirala ebikuta by‘amuwogo by‘amugaso nnyo nga bino birisibwa ensolo wamu n‘okukolamu ebyo ebyeeyambisibwa mukulima obutiko.
Engeri y‘okola ensaano
Kungula muwogo oluvannyuma lw‘emyezi 16 oba 18 era bw‘omala yawula muwogo atatukirira na mutindo okuva kwoyo atukiridde n‘omutindo. Muwaate era omwoze okusobola okumugyamu obukyaafu. Muwogo awatiddwa musalesale mubutndu butonotono era omusse okusobola omukeendeeza mu sayizi olw‘okusobola okufuna muwogo omwomutindo abaguzi gwebetanira ennyo.
Muwogo omubisi gw‘omazze okussa muteeke mubukutiya era obusibe kumumwa olwo obukutiya bunyige okumala ennaku wakati we 2 ne 4 okusobola okumugyamu amazzi. Bowmala muwogo mugye mukakutiya omukalange muntamu eri kumuliro nga bw‘ogatamu ku buto wekinazi olw‘okwewala muwogo okusiriira wamu n‘okuwa muwogo laangi egyeru kuba kino kisikiriza abaguzi. Nekisembayo muwogo bw‘omala okumuyisa kumitedera eyo gyonna muteke mubukutiya obutukula era omuteke ku motoka omutwaale mubutale eri abaguzi.