Ensalosalo zamugaso kuba ziziyiza mukoka. Mukino amakungula geyongera nennyingiza yomulimi neyeyongera. Kunsozi ne‘kubuserengeto, enkuba ekulukusa ettaka lyokungulu so nga ly‘eriba ejjimu. Ensalosalo giba mikutu egyobuwangaazi egisimwa naddala kubuserengeto okukendeeza kumisinde kwegaddukira negasobola okukka empola muttaka. Osobola okutandika okusibira ddala oluvanyuma lwenkuba esooka, olwo ensigo zimere bulungi nezitakosebwa kyeya.
Engeri yokusima ensalosalo
Tandikira wagulu kunzuvunuko y‘ennimiro. Kukaserengeto pima mitta 25 kumutwe oluvannyuma pima mita 50 okuva kunsalosalo emmu okudda kundala. Kubuserengeto, akesimba sima ensalosalo nga ziri kumukumu.
Kwata okugulu kwa A frame okunywereza wamu okwate okugulu okulala okutambuze okutuusa lw‘otuuka kubutereevu pbwetaagisa. Bwobufuna level nyweza akesuubo(suspension). Kino kikole okutuusa ngomalilizza olusalosalo. Yoyoota wagulu wolusalosalo awasongoleredde basobole okufulafulawo obulungi.
Kuttaka elyebbumba ffulafuula emirundi ebiri kubuli luda lwalusalosalo. Okukola entuumo y‘ettaka osobola okukanyuga ettaka wagulu wa layini. Kuntuumo ey‘omusenyu fuulafuula wakiri emirundi esatu okwetoloola ensalosalo.
Okukattira entuumo wagulu wolusalosalongettaka lyantuumo kymugaso bwotakikola litwalibwa mukoka.
Leka ebbali wennimiro obukutu amazzi wegasobola okufulumira.