Okukola mu ekibala kya Neem
Mu kusooka, kuba ekibala n’obwegendereza ng’okozesa ekinu n’omusekuzo okuggyako eky’okungulu oluvannyuma obisse ku tundubali okutuuka nga bikaze. Teeka ebibala bya neem ebikaze mu kinu era obisekule n’obwegendereza okusobola okuggyako ensigo nga togimementudde.
Mu ngeri y’emu, kozesa akawero aka kotoni ka 20 ku 10cm, kazingemu omulundi gumu era otunge ensonda wamu okusobola okukolamu ensawo ey’ensaano, opime 250g y’ensaano,ogipakire mu nsawo ogisibe waggulu oluvanyuma vuogisse mu kaveera. Teereka akasawo k’ensaano mu kifo ekikalu ate nga kiweweevu ateera mu kutegeka eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime, gyamu akasawo k’ensaano mu kaveera oginyike mu liita 5 ya mazzi era oluvannyuma lw’essaawa 24, kamula amajaani gano okusobola okuggyamu ekirungo kya neem ekisoboka okumala eddakika 10
Buli kasawo k’ensaano kavamu liita 5 z’eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime, biyiwe mu bbomba efuuyira era ofuuyire ebirime. Eddagala lya neem teritekeddwa kukozesebwa mu bifo ebirinaanye ebidiba by’ennyanja kuba lya bulabe nnyo eri eby’ennyanja n’okusembayo, lifuuyire mu budde nga bugenze; ekawungeezi, ekiro oba ku makya ennyo.