»Ensimba n‘endabirira y‘ebijanjaalo ebikulira wansi ne kasooli.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Ugi7Fy6OJ5I

Ebbanga: 

00:17:16

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2014

Ensibuko / Omuwandiisi: 

FCI TV
»Akatambi kanno kakwata ku kulima n‘okulabirira ebijanjaalo ebikulira wansi ne kasooli okusobola okwongera ku makungula.«

Kasooli mmere nkulu, era eriibwa nnyo. Kasooli ali kumutindo ogw‘ansi aviirako emiwendo emitono .Wabbula kasooli aterekebwa mu stoowa okusobola okukakkasa nti abeera wo mu bujjuvu mu mwaka obutasuula katale ke.

Kirungi nnyo okuteeka nitrogen mu ttaka nga tonatandika kusiimba nekumutendera ng‘ensigo zikuze kubanga yetagibwa mu bungi. Ebigobererwa mu kutereka kasooli byebino, ebbanga ery‘omutereka, obungi bw‘amazzi mu mpeke ku mutendera gw‘okukungula,obungi bwa kasooli gw‘okungudde, akatale n‘ekika ky‘entambula ne Sitoowa eyisa empewo obbulungi. Kasooli alina okukazibwa nasigaza obungi bw‘amazzi bwa kipimo 13% era kozesa ettundubaali eriyonjo.

Ebigoberebwa mu kulima kasooli

Sooka okabale ettaka okusobola oligoonza n‘okwewala endwadde ezikwata ku mitendera ez‘enjawulo. Olyoke osige ensigo ezekkanyiziddwa abakugu mu kiseera ky‘enkuba era ogoberere amabanga agakulagiddwa.

Mu kugattako, lima mu omuddo oguteetagibbwa wakaati wa wiiki 4-5 okusobola okukendeeza ku kuvugannya kw‘ebiriisa wakati w‘omuddo n‘ekimera ngaa wofuuyira ebirime eddagala okusobbola okutta obuwuka awamu n‘okukungula mu budde, tereka kasoooli okusobola okwewala okufiirizibwa era olondemu obukyafu okusobola okukuuuma omutindo ,Oluvannyuma longosa stowa era ogifuuyire eddagala nga tonaba ku kungula okusobola okutta obuwuka era totereka kasooli mu sitoowa erimu e bbuggumu eringi okusobola okukuuma omutindo .

Okwongerako, kasooli mujeeko enfuufu nga tonamutereka, tabula eddagala erita obuwuka okuziyiza okutaataganyizibwa kw‘obuwuka era omutereke mu sitoowa eyingiramu empewo obulungi okusobola okukuuma ebbugumu eddungi . Sitoowa zirina okuba nga nnene okusobozesa okulambula ,okulongosa enfuufu n‘okuyingiza empewo obulungi. Wabula era tewerabbira ku mutereka ku kibaawo okusobola okumuziyiza okukukula .

.Okusobola okuziyiza obuwuka okuyingira sitoowa ,sala omuddo ogwetolodde sitoowa era oteeke wo ebyeyaambisibwa okukwata emmese zireme okuyingira mu sitoowa

Mu kumaliriza kozesa ettuundubaali ,kasooli mukongole bulungi, empeko zijjeeko bulungi enfuufu, mutereke mu nsawo ezikoleddwa mu kigoogwa,kasooli mutereke mu sitoowa aleme okummerako obutwa mu kasooli obuyitibwa Aflatoxins.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:24Kasooli mmere nkulu nnyo asobola okutudibwa nga yakanuulwa oba nga akubiddwa
01:2501:45Engeri y‘okulima mu kasooli ali ku mutindo.
01:4602:24Kabala ettaka ng‘enkuba tenatandika ku tonnya
02:2503:02Kozesa ensigo ezekkanyiziddwa abakugu
03:0303:56Siga mu biseera by‘enkuba, owe amabanga amalungi era oteekemu ekirungo kya phosphate n‘ekya nitrogen.
03:5705:53Kabala enimiro wakati wa wiiki 4 ku 5 ,fuyira ennimiro n‘eddagala eritta obuwuka era okungule mu budde
05:5406:50Tereka bulungi kasooli,londamu esigo ezononese era ogoberere endagiriro.
06:5108:15Zimba sitoowa eyisa empewo obulungi,girongose era ogifuuyire.
08:1608:58SOkukongola kasooli omukalu ku ttundubaali nga alina amazzi ga kipimo kya 13% era olondemu empeke ezonoonose.
08:5909:32Tereka mu nsawo,totereka kasooli mu bbugumu lingi.
09:3310:43Jjako enfuufu ku kasooli nga tonamutereka, longoosa ettundubaali era otabule eddagala erigenda okumufuuyirwa.
10:4411:18Tereka empeke mu nsawo, okutereka okulungi kuviirako emiwendo emirungi.
11:1913:04Kozesa sitoowa eyisa empewo obulungi era topanga kasooli mu sitoowa.
13:0513:44.Pima era okuume obuwandiike ku kasooli, sitoowa jizimbe nga nnene era omutereke ku kibaawo.
13:4514:32Ebituli bizibe,longoosa sitoowa era ensawo za kasooli zijje ku ttaka ne ku kisenge.
14:3314:55omuddo ogwetoolodde sitoowa gusale era sitoowa oogiteekeko obukozesebwa mu ku kwata emmese era otereke mu kisawo ekikoleddwa mu kigoogwa.
14:5615:54Jjamu empewo n‘enfuufu,kozesa ettundubaali ekkalu,kongola bulungi,empeke zijjeeko enfuufu bulungi.
15:5516:08Tereka mu nsawo ezikoleddwa mu kitoogo.
16:0917:16Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *