Okulya kutwala ebintu 70 ku 100 ku mbalirira y’okulunda semutundu era bwobna oyagala semutundu zo okukula obulungi, wetaaga okwewala ensobi ezikolebwa mu kuliisa. Ensobi esooka abalunzi gyebakola kwekuziwa emere eyitiridde nga wano abalunzi bawa ebyenyanja emere nyinji okusinga gyebyetaaga. Mu kukiisa emere eyitiridde, wabawo okwonoona emere n’olwekyo olina okukeberanga emere gyowa ebyenyanja buli kaseera era eno yeyongera buli ekyenyanja lwekikula.
Ensobi endala mu kuliisa
Okuwa ebyenyanja emere entono. Kino tekikosa bukosa sente zitekebwamu naye n’ebyenyanja byenyini. Bwotabiwa kukuta, ebyenyanja bitwala ebbanga ddene okutuuka ku buzito era kyeretawo n’embeera y’obusezi nga ebyenyanja birya binabyo kulwebula ly’emere.
Okulisa mu budde obukyamu. Ebyenyanja birina obudde webyagalira okulya era nga nobusobozi bwokugaya buli waggulu. Okuliisa ebyenyanja mu budde obukyamu kiretera emere esinga obutalibwa nolwekyo neba nga eyononeka.
Okuliisa mu ngeri etakwatagana kwegamba kikulu okubeera n’enkola gyokozesa okuwa ebyenyanja emere. Abalunzi abasinga bagala okuyiwamu emere yona awantu wamu naye kino kikyamu nolwekyo kikulu okulaba nga ebyenyanja byona birya mu kiseera kimu.
Endiisa embi nga owa ebyenyanja emere ey’empeke enene okusinga byegyetaaga. Kino kiretera ebyenyanja obutalya era kino kikosa enkula y’ebyenyanja mu ngeri embi.