Bweweyambisa ensolo n‘emiti ettaka lyo ligimuka olwo oba omaze okulwanyisa kayongo (striga weed). Kayongo alumba ebirime naddala ebyempeke nasala kumakungula. Kuttaka ejimu ojasanga ko kayongo mutono bwogerageranya n‘eritali ddungi. Bwoleka ensolo zo ebiseera ebimu n‘ozisiba mu nnimiro oba n‘ozikumira mu nnimiro bino byankizo mukugimusa ettaka.
Okukuuma emiti
Mubitundu ebirimu emiti, waliwo empewo entono era ettaka libeera linnyogovu. Ekirungi ekirala kiri nti ensolo bwezirya gasiya omuzungu zifuna amata mangi nennyana zaazo zikula bulungi.
Obusa bwensolo
Buli busa bwamugaso eri ettaka sinsonga oba nkoko, mbuzi, ndiga, ngamiya oba nte. Okugimusa ettaka w‘ettaga kusiba nsolo munnimiro zo. Bwolaba obusa bungi mukifo kimu ekyennimiro osobola obusasanya ennimiro yonna.
Okukola ennimiro ekole mungeri ya beedi okusobola okunywa omusulo obikamu ebisoolisooli n‘obikugira mungeri yo lugo. Embuzi n‘endiga kyangu okuizimbira ekiyumba ekyawagulu ekikwanguyira okulembeka omusulo n‘okukunganya obusa. Engeri endala ey‘okukunganya kalimbwe yeyokoesa ekika kyekiyumba (pen). Mubudde bwekyeya abalimi abamu bateesa nabalunzi bayiseeko amagana g‘ente zaabwe munnimiro zaabwe. Nabwekityo osaana osimbe ebidiba n‘emiti okuwazisa amagana g‘ente okujja munnimiro yo.
Obusa obubisi bubaamu ensigo z‘omuddo kyova olaba kiba kirungi okubusimira ekinnya n‘osoka obuterekamu. Enkuba wetonnyera ensigo z‘omuddo eziba mubusa ziba zivunze kati awo osobola okussa obusa munnimiro.
Togezako kuwa nsolo muddo gwa kayongo kubanga okwewala okusasanya ensigo za kayongo nekirala oyina okuula kayongo nengalo buli luvanyuma lwamakungula.