Ebinnyonyi okulya amaggi gaazo kikendeza ku nfuna y‘omulunzi ate gyezikoma okuba nga zirya amaggi gaazo ekizibu gyekikoma okukaluba okumalawo.
Okwongerezaako, amabanga agalagiddwa galina okuba ebigere binaabina 4 ku buli ludda n‘ebinnyonyi ebibiika birina okuweebwa emmere ezimba omubiri erimu ekirungo ekiri wakati wa ebitundu 16 ne 18 ku buli kikumi. Ku binnyonyi ebimanyidde okulya amaggi kozesanga ebibiikirwamu nga bisobola okugyawo amaggi ku lwabyo, obupiira obukaluba,teekawo ekibbokisi ne nkoko zitoleko emimwa.
Ensonga n‘okugonjolwa
Okusookera ddala, okutuuka enkoko ennyingi mu kifo ekimu kye kintu ekisinga okuviirako enkoko okulya amaggi era kino kisobola okugonjolwa singa tufuna ekifo ekimala mwezibeera oba enkoko zireke zitaayaye zokka.
Okwongerezaako, bwotafuna bibbokisi mu biikirwa, awo osobola okufuna ekibbokisi kimu ku buli nkoko nnya oba okozese obutimba obwesulira amaggi bwokka.
Ekirala, ebbula ly‘amazzi, livirako ennyonta noolwekyo fuba okulaba nga enkoko oziwa amazzi amayonjo.
Enjala mu binnyonyi nayo ereetera ebinnyonyi okulya amaggi noolw‘ensonga eyo ziwe emmere y‘ebisolo ennungi bulijjo.
Endiisa embi mu binnyonyi bigireetera okulya amaggi noolwekyo yongeramu emmere ezimba omubiri n‘eggumya amagumba n‘amannyo mu mmere y‘ebisolo.
Enkoko zireke zetaaye zireme kuwubaala.
Ekitangaala ekingi mu biyumba nakyo kiviirako enkoko okulya amaggi noolwekyo kendeza ku kitangaala.
Teekawo ebibuzaabuza enkoko zireme kugwebwako mirembe oba ozireke zitaayaye zokka, oba kendeza ku bungi bwazo.
Enkoko ezitandiika okubiika nazo zirya amaggi noolwekyo yongeramu ekirungo ekizimba omubiri n‘ekiggumya amagumba.s
Ekisembayo, okwagala okumanya naddala mu binnyonyi nolwensonga eyo ngazakamala okubiika kugganya amaggioba zireke zitaayaye.