»Ensonga ennungi 9 lwaki wanditandise obulunzi bw‘ebinyonyi obw‘ensimbi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=uUnZxrWniBQ&t=107s

Ebbanga: 

00:09:13

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Adams Farm Foods
»Muu katambi kano, njakugabana naawe ensonga ennungi 9 lwaki wanditandise obulunzi bw‘ebinyonyi obwa ssente. Ngenda kukuwa obukodyo n‘ebyokukola mu ndabirira y‘obukuta. Ojja kuyiga emirundi emeka gy‘olina okukyusizaamu obukuta ku faamu yo ey‘ebinyonyi.«

Eby‘obulunzi bifuna amagoba mangi singa ensolo zirabirirwa bulungi. Obulunzi bw‘ebinyonyi buwa abalunzi ebirungi bingi mu ngeri ez‘enjawulo.

Wabula ebinyonyi bikosebwa okubojjagana mu ngeri y‘okwebojja ebyoya, okwebojja obugere kirina okukomezebwa okulaba nga bikula bulungi. Kikubirizibwa okubiwa amazzi amayonjo, yisaawo akadde okungaanye amagi era olongoose bulungi ebiyumba by‘enkoko okuzisobozesa okukula obulungi wamu n‘amagoba amangi.

Emigaso gy‘okulunda ebinyonyi

Ekisooka, amagi g‘enkoko n‘ennyama yaazo egulibwa nnyo olwo n‘ofunamu ssente.

N‘ekirala obulunzi bw‘ebinyonyi buwa amagoba ag‘amangu kuba abalunzi b‘enkoko z‘amagi bbatandika okufunamu wakati wa wiiki 17 ku 21 wabula abalunda ez‘ennyama bafunamu wakati wa wiiki 6 ku 8.

Okwongerezaako, ebinyonyi byetaaga ssente ntono ez‘okukozesa kuba ebinyonyi tebyetaaga byuma bya maanyi ate era zeetaga ekifo kitono.

Okweyongerayo, enkoko z‘ennyama ziwa ennyama mu kaseera katono olwo amagoba ne gadda mangu.

Enkoko ziwa nnakavundira, ono akozesebwa okugimusa enkula y‘ebimera wamu n‘okumutunda okufuna ssente za faamu.

Obulunzi bw‘ebinyonyi buleetera faamu olw‘amagoba amangi agafunibwa ku faamu okweyimirimizaawo ate n‘ekisembayo ebyoya ebiva ku binyonyi bisobola okutundibwa okufuna ssente ku faamu.

Eby‘okuteekako essira

Ebinyonyi biriisenga emmere erimu ebiriisa okusobola okukula obulungi wamu n‘okwongera ku bungi bw‘ennyama n‘amagi.

Kakasa nti ozimba ebiyumba ebirungi okwongera ku by‘obulamu by‘ebisolo era otoole ku mimwa gy‘ebinyonyi okwewala okubojjagana.

Bulijjo weewale okuteeka ebinyonyi ebingi mu kifo ekimu empewo esobole okuyitaamu obulungi era okyusenga obukuta bw‘enkoko okwewala endwadde.

Ekisembayo teekawo ekifo ekirungi awookuggya amazzi okukendeeza ku nsaasaanya ya ssente ku faamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:29Eby‘obulunzi bifuna amagoba mangi singa ensolo zirabirirwa bulungi.
01:3001:55Obulunzi bw‘ebinyonyi buwa faamu ensimbi okuyita mu kutunda ennyama n‘amagi.
01:5603:05Amagi g‘enkoko gaagalibwa nnyo, obulunzi bw‘ebinyonyi buwa faamu ssente mu mangu ddala.
03:0604:10Okulunda enkoko kwetaaga ssente ntono, ekifo era kuwa abalunzi obuvunaanyizibwa.
04:1104:52Enkoko z‘ennyama ziwa ennyama mu kaseera akatono, enkoko era ziwa nnakavundira.
04:5305:51Obulunzi bw‘ebinyonyi buleetera faamu okweyimirizaawo, ebyoya ebiva ku binyonyi bisobola okutundibwa.
05:5206:12Eby‘okuteekako essira okusobola okufuna mu bulunzi bw‘ebinyonyi.
06:1307:19Ebinyonyi biriisenga emmere erimu ebiriisa okusobola okukula obulungi.
07:2007:54Kakasa endabirira ennungi ku faamu, ozimba ebiyumba ebirungi era otoole ku mimwa gy‘ebinyonyi.
07:5508:25Weewale okuteeka ebinyonyi ebingi mu kifo ekimu era okyusenga obukuta buli kadde.
08:2609:13Teekawo ekifo ekirungi awookuggya amazzi okukendeeza ku nsaasaanya ya ssente ku faamu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *