Okubikka ennimiro kuno kwe kubikka ettaka ery’okungulu n’omuddo omukalu oba ebikoola era waliwo ensonga nnyingi lwaki tukikola.
Mu ndabirira y’emiti egisimbiddwa, okubikka ennimiro kintu kikulu nnyo kubanga kirina emigaso mingi omuli: okuyamba omuti okufuna obukuumi okuva eri omuddo ogwonoona ebirime n’omuddo, kiyamba okukuumira obunyogovu mu ttaka era ebikozeseddwa mu kubikka era bikola nga ekigimusa nga bivunze n’okwongera ekirungo kya nitrogen mu miti.
ENGERI Y’OKUBIKKAMU ENNIMIRO
Ebikozesebwa mu kubikka ennimiro bisobola okuba nakavundikira omukwafu, era asobola okuteekebwa mu nnimiro ku mutendera oguli wakati wa kitundu kya inch oba emu, obukuta bw’embaawo, n’obukoola obuva ku miti gya pine naye ebisingira ddala okubikka ennimiro bwe bukuta bw’emiti.
Okukola okubikka okulungi, twala byogenda okukozesa mu kubikka ennimiro byolonzewo obiteeka ku nduli y’omuti nga biweza obuzito bwa inch 2 ne 4. Kakasa nti ebikozesbwa mu kubikka ennimiro tobibikka nnyo ku nduli y’omuti.
Nga otuuse okubikka ennimiro, weewale okutuuma ebikozesebwa mu kubikka ennimiro okwetoloola omuti: kino era kimanyiddwa nga okutuuma ennyo ebikozesebwa mu kubikka ennimiro kiyite volcano mulching.
ku miti egikuze, kebeera ebikozeseddwa mu kubikka wakiri omulundi gumu mu mwaka era mu kiseera ky’ekimu oggyemu omuddo ogwonoona ebirime oguba gukuze mu bikozesebwa mu kubikka ennimiro era obisaasaanye obibunye ettaka lyonna. Kino kikuyamba okumanya oba oteekeddwa okugattako omutendera gw’ebikozesebwa mu kubikka ennimiro oba tekyetaagisa.