Amatooke yemu ku mere eribwa mu nsi yona. Obwetaavu bwago buli waggulu okusinga enyingira yago nga kiva ku nima embi ekivamu amakungula amatono.
Okusokera ddala, ebitooke bimanyibwa nti bisimbibwa kuva kunsukusa n’abikolo, wabula okumerusa okuva mu butofaali kutandise okubunyisibwa kuba obusukusa obusongovu bwebusimbibwa okukula amangu. Bwoba osimba ensukusa, otemako omugogo nosimba ekikolo ekya wansi okusobola okufuna ekitooke ekigimu nga kigumu.
Nga ovude kubyo waggulu, akatundu okuvaku kitooke ekigimu obulungi kafunibwa okwalulwamu. Kano katerekebwa mu ngeri e’yekikugu nekazaala obwana obutalina bulwadde. Wabula, obutenkanankana mu katundu ka kitooke kikosa enkula wamu n’amakungula nolwekyokozesa obwo bwogye mu beedi ne labaratole ezimanyikibwa .
Ebisimbibwa (Ensukusa)
Obwana obuvude mu katundu akakolebwa mu labalatole buba bukulira kumu era okungula mukaseera katono. Buno obukuliza mu busawo obw’atimba era nobusa mu buveera nga mulimu ettaka ku naku 25- 30 era ofuuweko ekigimusa , eddagala eritta ebiwuka wamu n’ebiyamba okukuza.
Okusimba ebitooke
Nga tweyongerayo, kabala eniniro era ogireke okumala emyezi 2 okutta ebiwuka wamun’obuwuka obuleeta endwadde era otekemu wakiri tani 10 eza nakavundira mu kiseera nga olima nga ono atabulwa mu ttaka era n’osima ekinya kya fuuti 1.5 okuka wansi.
Chlorophyriphos, COC, ne DAP bitabulibwa mu mazzi era nebitekebwa mu buli kinya okwewala endwadde ezibeera mu ttaka.
Ebitooke bisimbwa ku bugazi bwa fuuti 6×6 oba 7×5 oba 4×4 oba 5×5 oba7x4x3.5 oba 7x4x4 wamu ne 8x4x3. Ensukuza okuva mu nsuku enamu obulungi sifunibwa , nezisengekebwa okusinzira ku bunene wamu n’enkula era nezisibimbwa mu layini ez’enjawulo. Jjukira obutasimba bitafanagana mu ngeri yokutabika era ogyako emirandira emikadde nakakuta katono.
Era tabula DAP, mancozeb, chlorophyriphos mu buusa obw’amazzi. Ensukusa zinyike ozigyemu, ozikalize mu kisikirize okumala olunaku era osimbe nga ogivunise okusoboal okufuna endokwa nga zikula ku misinde.
Sibyebyo byoka waggulu naye ensukuza ezimerusibwa mu labalatole , ozigya mu buveera n’osimba. Era simba ebikwata embuyaga okwetolola olusuku okugeza Sesbania negyceria