»Entabula ennyangu ey‘emmere y‘enkoko, ekitundu ekisooka«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Jxfzo9pfTRI

Ebbanga: 

00:11:43

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIM Agriculture
»Akatambi kano kakunnyonnyola ku ngeri gy‘oyinza okwetabuliramu emmere y‘ebinyonyi ennyangu era esoboka awaka.«

Emmere kintu kya mugaso nnyo mu ebyo ebiteekebwa mu kulunda enkoko era nkulu nnyo mu kusalawo okuyitimuka kwa ffaamu y‘enkoko.

Nga otabula emmere y‘enkoko, bw‘oba okimanyiiko kitono oba nga entabula togimanyiddeeko ddala, osobola okutabula emmere erimu ebirungo eby‘obutwa mu kutabula emmere ennyangu oba eteri u mutindo. Bw‘oba otabudde emmere eteri ku mutindo, enkoko ezibiika tezijja kubiikira mu budde era zijja kubiika amagi matono, so nga ate ez‘ennyama tezijja kufuna buzito kw‘oyinza okuzitundira mu bbanga lya wiiki mukaaga.

Ebirungo ebibeera mu mmere

Mu kutabula emmere, ebirungo eby‘enkukunala ebyetaagisa mulimu kasooli ow‘okuziwa amaanyi, ccacu (ow‘engano oba kasooli) okukola nga ebiwuziwuzi (fibre) ebyetaagisa ennyo mu kukuba emmere n‘emmere ezimba omubiri nga eva mu bimera okusingira ddala ssoya. Kyokka ekiyinza okukola nga ssoya mu kuleeta emmere ezimba omubiri ye entungo naye kikubirizibwa nti entungo ekozesebwe bantu abalina obukugu kubanga entungo zijjudde butto, ekyongera obungi bwa butoo mu mmere y‘enkoko era singa emmere eyo eweebwa enkoko ez‘amagi, eyongera ku bungi bw‘amasavu olwo ezibiika ziba tezijja kubiika.

Nga okozesa ssoya ng‘emmere eva mu bimera ezimba omubiri, kakasa nti asiikiddwako oba afumbiddwa kubanga ssoya omubisi alimu ebirungo ebikendeeza ekiriisa (cytokinins) era biyinza okubeera eby‘obutwa eri ebinyonyi.

Osobola okukozesa ebikanja by‘entungo bye bamaze okukamulamu butto, oba ebikanja by‘ensigo za ppamba ze bazmaze okukamulamu butto, era bwe biba bikozeseddwa, kakasa nti biggiddwako akakkuta kubanga ekikuta ky‘ensigo za ppamba kirina ebirungo ebikendeeza ekiriisa ebyegatta n‘ebiriisa ne bibibuza enkoko ne zitabifuna oba ne bifuuka bya butwa.

Osobola era okugattamu mukene/ebyennyanja ebisekuddwa newankubadde si birungi kuwa nkoko z‘amagi kubanga bireeta akasu ak‘amaanyi mu magi bwe biba bikozeseddwa mu bungi ate era bikendeeza ebbanga amagi lye gayinza okumala nga gaterekeddwa olw‘ekirungo ekingi ekizimba omubiri.

Ekisemba, weetaaga layimu. Emmere bw‘eba ya nkoko z‘amagi, weetaaga ekipimo kya bitundu bisatu ku buli kikumi, ku nkoko ez‘ennyama weetaaga ekipimo kya kitundu kimu n‘obutundu butaano ku buli kikumi so nga ku bukoko obuto weetaaga ekipimo kya kitundu kimu n‘obutundu busatu ku buli kikumi. Layimu wa mugaso nnyo eri enkoko ezibiika.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Emmere ky‘ekikulu ekisinziirwako obulungi n‘okuyitimuka kwa ffaamu oba eddundiro ly‘ebinyonyi.
01:3102:14Bwe kikolebwa nga tolina ky‘okimanyiiko, oyinza okutabula emmere ey‘obutwa oba eteri ku mutindo.
02:1504:50Mu kutabula emmere, weetaaga kasooli, ccacu n‘emmere ezimba omubiri (ssoya).
04:5105:39Nga okozesa ssoya, kakasa nti asiikiddwako oba mufumbe.
05:4007:55Osobola okukozesa ebikanja ebivudde mu nsigo z‘entungo oba eza ppamba ezimaze okukamulwamu butto.
07:5609:47Weetaaga ebyennyanja ebisekule naye bino si birungi kuwa nkoko z‘amagi.
09:4811:43N‘ekisemba, weetaaga layimu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *