»Entangira y’ebitonde eby’onoona ebirime ey’obutonde«
Ebitonde eby’onoona ebirime kizibu kinene nnyo eri obulimi era bino bisobola okutangirwa nga tukozesa obutonde.
Ekintu ekisooka okulowoozebwaako mukutangira ebitonde eby’onoona ebirime lye ttaka kubanga ettaka egimu lyankizo nnyo bwobanga oyagala okutangira ebitonde obulungi. Kakasa nti agattamu ebigimusa eby’obutonde bingi mu ttaka era kakasa nti okebera ettaka ekitono enyo omulundi gumu buli mwaaka okumanya kirungo ki ekibula mu ttaka lyo. Ebigimusa ebikolerele n’eddagala eritta ebiwuka litta ebiwuka eby’omugaso ebibeera mu ttaka.
Obukodyo bwokutangira ebitonde eby’onoona ebirime
Kuuma ennimiro yo nga nyonjo nga ogyamu ebikoola ebikalu, ebibala ebigudde n’ebintu ebirala ebitereka ebiwuka.
Kuuma ebirime byo nga binyirira nga obeera ne ttaka edungi, fukirira ebirime byo buli kiseera era osimbire mukiseera ekituufu. Bino biyamba ebirime okubeera nga biri mumbeera nungi ate nga ebirime ebirungi birwaanyisa ebiwuka.
nga ofuna munkwatagana wakati w’ebiwuka mu nnimiro. Bwotakozesa ddagala eritta ebiwuka, ebitonde eby’omugaso biyamba okutangira ebiwuka eby’onoona ebirime.
Yiga okumanya ebiwuka eby’omugaso byonna era n’emitendera mwebikulira. ebiwuka eby’omugaso mulimu ebiyitibwa ladybirds, kongoola mabeere, enjuki ne nnamunkanga. Lekeraawo okukozesa eddagala eritta ebiwuka kubanga lino litta byonna ebiwuka eby’omugaso nebitali byamugaso.
Ezijanjaba ennyangu
Tobaako ky’okola, Wekaanye ebirime buli lunnaku kubanga ebirime ebirungi bijja kugumira obulabe bw’ebiwuka obutonotono.
Okufuuyira ebitundu by’ebimera ebirumbiddwa ebiwuka n’amazzi buli kiseera kiyamba okugoba ebiwuka, Okw’etolooza endokwa z’ebirime n’ebintu ebigumu kiyamba okutangira obusaanyi obubisala.
Salako ebikoola ebirumbidwa obisuule mukasasiro.
Okulonda ebiw\uka nengalo kisobola okukolebwa kumakya. Okufuuyira ne katunguluccumu, bacillus thuringiensis, horticultural spray ne buto okuva mukirime kya neem bisobola okukozesebwa okufuuyira ebiwuka.