Okusinzira nti lumonde alina obuwangaazi butono olwa amazzi amangi agamulimu, abalimi bamu kolamu emmere y‘ebisolo aleme kwonooneka n‘okukola nga ekyongerezebwako ku mmere eriibwa ensolo.
Olw‘okweyongera kw‘obungi bwa bantu, lumonde akola nga emmere eriibwa abantu n‘ensolo kuba alimu ekiriisa ekizimba omubiri, buli kiro 4 eza malagala teekamu kiro 1 ey‘ekirungo.
Amalagala ne lumonde bivunda mangu olw‘a mazzi amangi noolwekyo abalimi bakozesa ennima enongooseemu.
Okukola emmere y‘ebisolo eya silage
Mugendamu ebikoola ebitemeteme,amalagala, lumonde,n‘omuddo ebitundu 30 ku buli kikumi ccacu w‘engaano mu bipimo ebituufu.
Akaloddo kagatibwamu okwanguya okukkatuuka n‘okwongera ku bungi bw‘ebiriisa olwo n‘ebiterekebwa okumala ennaku 30.
Bino biwangaalira ennaku 400 kasita biba nga bitegekeddwa bulungi.
Emmere eno eterekebwa naye tokiriza mpewo ku gituukako wano ggyamu amazzi agayitiridde ng‘okozesa ekiveera ekitereka emmere eppakiddwa eweza kiro 500.
Langi ennungi ey‘emmere eno eya silage erina okuba nga eyaka oba nga ya kacungwa ate nga ekaluba n‘okuwunya ennyo.
Okutereka emmere eya silage.
Erina okuterekebwa mu kisikirize okusobola okuziyiza emmese n‘ekamujje okuluma ekiveera.
Sumulula oggyemu ekipimo kyoyagala okuliisa n‘oluvanyuma osibe omyumyule nnyo kireme okuyingiza empewo.
Kino kiyamba ensolo okufuna emmere eriibwa, okutumbula ku nfuna n‘enyingiza y‘omulimi.