»Entereka n‘enkuuma ennungi eyakasooli«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/good-storing-and-conserving-maize-grain

Ebbanga: 

00:13:31

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AFAAS
»Ngojjeeko abyagi eby‘obudongo ebilongosemu, osobola okozesa ebyagi byekyuma ebikirizibwa okutereka kasooli. Osobola nokukozesa amapipa, bwoba toyina ekimu kwebyo kozesa obukutiya obwabulijjo naye gattamu ebikuuma kasooli, kuba tebasobola kwetangira kuyingiza na‘kufulumya mpewo«

Kulwentereka empaanvu namakungula ga kasooli amalungi, kyamugaso okumanya butya bwoterekamu kasooli obulungi. Kakasa nti sitoowa yo teyingiza mpewo, kino tekisobozesa buwuka bwonoona kasooli kuba na wakwekukuma.

Ebyagi eby‘obudongo

Ebyagi ebyobudongo biyina okuzimbibwa ku musingi ogwamayinja okwewala enkuyege okulya kasooli, okwewala obuuka obutono obwonona kasooli. Birina obubaati kumpagi zebyagi era birina ebisanikira bibiriga‘ekimu kikoleddwa mu bumba ate ekirala kikoleddw mu nsekeseke. Ebisanikira bino bitaasa amakungula okuva eri obuwuka obwonoona kasooli.

Kyamugaso okulongosa ebyagi no‘kubikuma nga bikalu. Osobola nokwokya ensekeseke ebweru okubitangira eri obuwuka. Wewale okumenyeka oba ennyafa kubisenge, kubisanikira oba kuttaka. Bwosanga awatise, terezawo mubunambiro. Buli kimu kirina okubeera mumbeera ennungi, bwoba oyagala obuwangaazi, osobola okwongeramu ebikoola bye niimu.

Togattanga kasooli omukadde no mupya awamu, embalazandiba ez‘enjawulo era e‘mukuzoyandirumbibwa.

Engeri endala gy‘osobola okuterekamu

Kumpi ne‘byagi eny‘obudongo osobola okutereka amakungula mu byagi eby‘ebyuma, eppipa oba ebisawo. Bwokozesa ebisawo, weyambise ebyo ebiyitibwa plc ebirina emibiri esatu mugumu, obuveera bwa plastika munda bubiri n‘akatunge kungulu. Bwoba tolina ekimu kubino ebiterekerwamu, osobola okweyambisa akakutiya akabulijjo. Era yongeramu ebirungo ebyetangira kuba akakutiya kabulijjo tekalina busobozi buziyiza mpewo kuyitamu.

Byona bwoba weyambisiza okuterekamu, kakasa nti tebikoona ku bisenge oba kuttaka nga bituziddwa kukitandaalo kyebibaawo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:10Kasooli bwaterekebwa obubi agwa omutindo
01:1102:00Wewa, londa era yanika kasooli bulungi nga tonnamutereka.
02:0102:40Ekyaagi ky‘obudongo byebisinga okuterekebwamu kasooli
02:4103:53Osaana okozese ebyagi byobudongo ebirongooseemu ebitudde ku mayinja okwewala enkuyege.
03:5404:14Nga tonatereka kasooli olina okulongosa nokufuyira eddagala elita obuwuka mu kyagi.
04:1504:23Ekifo ekyetoloodde ekyagi kirina okuba nga kiyonjo ate nga kikalu bulungi.
04:2404:51Ekyagi tekirina kubaamu njatika era kirina okuba nga kibikidwa nsekeseke.
04:5205:20Yongera mu kyagi ebikuuma kasooli nga mulamu.
05:2105:45Totabula kasooli mupya na mukadde kuba kino kikosa omutindo.
05:4606:26Omulundi gumu mu wiiki, yola embatu okuva mubifo ebyenjawulo olabe oba kasooli wo alumbidwa oba awewedde.
06:2807:00Osobola era okukozesa ebyagi ebyebyuma, ensawo ezomulembe, amapipa oba ensawo ezabulijjo ng‘okozesa nebiyinza okukuuma kasooli.
07:0108:15Ebyagi tebirina kuba nabituli era birina okuba mu sitoowa ennenne
08:1608:40Olina okubika obulungi ebyagi nga weyambisa enkoba okuziyiza empewo okuyingira oba okufuluma.
108:4110:35Ensawo ekika kya plc kyakolebwa kutereka kasooli era tekiyingiza mpewo.
10:3611:05Ebyagi nensawo ekika kya plc tezirina kwekona kubisenge oba kutula kuttaka ate era zirina okutula kukitandaalo kye‘bibaawo.
11:0613:31Okuwumbawumba.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *