»Entereka ya kawo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=HWws_lr4GyQ

Ebbanga: 

00:12:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

ICRISAT
»Akatambi k‘omulimi nga atendeka mulimi munne ku ntereka ya kawo«

Okufiirizibwa okusinga mu kulima kawo kujjira mu kiseera nga okukungula kuwedde. Enkola enkyamu okugeza obutakaza bulungi nsigo, entereka embi, kikendeeza omutindo n‘obungi bwa kawo.

Kawo aliibwa aboomumaka, aleeta ensimbi wamu n‘emmere ezimba omubiri eri ebisolo. kawo, ebinyeebwa ne soya bisobola okukozeesebwa nga ekimera eky‘okukubuzaabuza ebitonde ebyonoona ebirime okutangira omuddo ogunyuunyuunta okugeza; kayongo era bigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka.

Okukaza ensigo

Bwe twogera ku kukaza ensigo, obutakala bulungi kikosa obusobozi bw‘ensigo okumera. Kaaliza kawo awedde okuwewa obulungi mu kasana okumala essaawa nnya mu nnaku ssatu era otereke mu kintu mw‘ayinza okuteekebwa wagguluko okuva ku ttaka.

Ekiwuka ekirya ensigo za kawo kibiika amagi ageekwata ku minyololo oba ensigo, gaalula ne gasima mu nsigo.

Entereka y‘ensigo

Nga ebiwuka ebirina ebyoya ebya kifudu bwe biri ebiwuka ebisinga okukosa ensigo za kawo, waliwo obwetaavu okukendeeza okwonoonebwa kw‘ensigo nga oziyiza ebyana ebyaludde okuyingira mu tterekero.

Nga otereka, laba nga empewo teyingira era laba nga tobikkula kintu mw‘omutadde okuziyiza okwalula kw‘amagi. Tabula ensigo n‘omusenyu oguleetebwa mukoka n‘evvu okuggyamu empewo yonna mu nsigo nga tezinnaterekebwa. Kino kitta ebiwuka nga tebiwaka. N‘ekisembayo, kozesa ebimera ebikaze kyokka nga biwunya nnyo okutta oba okugoba ebiwuka mu kutereka.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:55Kawo kimera kya mmere ekiriibwa eky‘omugaso era ekyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka, kireeta ssente n‘emmere ezimba omubiri.
00:5601:14Kawo, soya n‘ebinyeebwa bimera ebisimbibwa okukwatirako ebitonde ebyonoona ebirime ebiziyiza omuddo ogunyuunyuunta ebimera.
01:1501:28Kawo ayongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka ku lw‘ebirime eby‘empeke.
01:2901:43Okukyusakyusa mu birimibwa mu kifo ekimu n‘okutobeka ebirime, kozesa ensigo ez‘omutindo.
01:4403:23Obutakaza bulungi nsigo kireetera okufa kw‘obusobozi bw‘okumera.
03:2403:53Ekiwuka ekirya ensigo za kawo kibiika amagi, gaalula ne gavaamu ebyana ne gakuba ebituli mu nsigo.
03:5404:17Ebyana birya ne bikula ekivaamu kuwaka ne byongera okubiika amagi.
04:1805:07Okukendeeza okwonooneka, ziyiza okuleetebwa kw‘ebyana mu tterekero nga bijjira ku nsigo.
05:0806:52Laba nga ebiwuka tebifuna mpewo era oziyize okusaanukula ekintu omuli ensigo nga ziri mu kuterekebwa.
06:5307:42Tabula ensigo mu musenyu oguleetebwa mukoka n‘evvu okugoba empewo esobola okukozesebwa ekiwuka.
07:4310:03Kaza ebirime ebiwunya ennyo okgoba oba okutta ebiwuka mu kutereka.
10:0412:00Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *