Endwadde bye bimu ku bizibu mu bulunzi bw’enkoko naye zisobola okujjanjabwa mu ngeri ey’obutonde.
Singa ekinnyonyi kyo kiwebwa obutwa, sekula amanda ogateeke mu mazzi ag’okunywa. Amanda gayamba okunywamu obutwa bwonna. Okujjanjaba enkoko ezirina obubonero bwa senyiga, kozesa eddagala eriyitibwa colifox ne interflox, era okakase nti mu nnyumba yaazo mulimu ebbugumu erimala atera oteekeko ekifo ekiyingiza n’okufulumya empewo zireme kuziyira.
Bwe zibeera n’omusaayi mu kalimbwe oba nga mumyufu. Ebiseera ebisinga bubeera bulwadde bw’okuddukana obwa coccidiosis era busobola okujjanjabwa nga okozesa eddagala eririmu ekirungo kya sulphur nga sulphur cox. Era osobola okusekula ekigajji oba kamulaali naye sibyonna n’obiteeka mu mazzi g’okunywa. Okuziyiza kino kukolebwa nga okakasa nti wezisula wakalu bulungi.
Endwadde endala n’enzijjanjaba yaazo
obuzimba okuliraana amaaso. Buno buleetebwa akawuka akayitibwa fowl pox, akatambuzibwa ensiri era busobola okujjanjabwa ng’okozesa eddagala lya nemovit oba sulphur cox. Ziyiza ensiri okukendeeza ensaasaanya y’obulwadde.
Enjoka mu kalimbwe waazo zisobola okwewala mu ngeri y’obutonde nga oteeka kamulaali mu mazzi g’okunywa. Tta enjoka mu bukoko ng’okyusakyusa mu bbanga lya wiiki 8.
Okuziyiza okusuula amagi mu nkoko ezibiika nga okakasa nti enkoko oziriisa bulungi kubanga okuliisa obubi kiviraako enkoko okukogga ate singa enkoko zikendera n’eziweza kilo 1.5 tezisobola kubiika magi. Enkoko zo ziwe ebigeza amagi.
Ekiddukano ekya kiragala, singa enkoko ndwadde awo eba terya bulungi. Ejjanjabibwa nga owa ebinnyonyi ekigajji okitadde mu mazzi oba okwongeza ku ndya y’enkoko nga oziwa entangawuzi.
Obulwadde bwe kkabiriro obuva ku bbugumu eriyitiridde mu mubiri gw’enkoko: kino kyeyolekera mu kuweekera n’okuzibuwalirwa okusa . Kino kisobola okujjanjabwa nga owa enkoko amazzi aganyogoga oba okuziwa eddagala erirumu ekirungo kya electrolyte, era weewala omujjuzo ogusukiridde.
Ebibumba ebigazi: buleetebwa singa amazzi gakunganira mu lubuto nga kiva ku butateekewo bulungi mpewo weyingirira n’ewefulumira mpozzi n’ebbugumu eritamala naddala mu kkulizo. Kino kisoboka singa oleeta enkoko ez’ekigero zeziretebwa.