Olwokuba eky‘amaguzi ekirungi, mukulunda enkoko omutindo n‘obungi bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya ekikozesebwa.
Faamu y‘ente z‘amata mulimu ogufunisa amagoba era amata g‘ente gowooma era mulimu ekiriisa, gongera ku muwendo gw‘abantu abekozesa, kikendeeza obwavu era nokwongera ku nkekereza y‘esente ekivaako omutindoi gw‘obulamu okweyongera. Era tufunamu emigimusa eby‘obutonde omukolebwa omukka oguva mu nakavundira okufuna amasanyalaze.
Endabirira y‘ente z‘amata
Okufunamu obulungi, ziwe ekiraalo ekirungi okukumiramu ente nga zivaamu amata amagi era nga namu. Ziwe amabanga agamala mund mu kiralo okusinzira ku kika ky‘ente naye nga kitera kubeera fuuti ku fuuti bwekiba nga kiri mu kyangaala ate fuuti 40 ku 40 bwekiba kizimbe.
Mungeri yemu, kola awayiita empewo nga walungi okukakasa nti empewo enungi eyingira wamu n‘ekitangaala mu nda mu kiralo. Okuziriisa, omuddo omubisi gwegusiinga okozesebwa okuliisa ente era ebirala mulimu kyakyu w‘engano, ebisolosooli, kyakyu w‘ebijjanjalo, kyakyu w‘entungo n‘ebikolokolo by‘akasooli,
uli nte ekamwa giwe kilo 1.5 era olabirire obuyana bulungi okuva lwebuzalidwa era nga obuliisa emirundi 5 ku 6 okwongera ku bungi bw‘amata. Ente ziriise emere erimu ebiriisa oziwe amazzi amayonjo agamala era oyongere n‘endabirira nga ozigemesa mu budde, okuyonja ekiralo era nokwoza ente oluberera.
Okwongerako, loonda ekifo ekituufu okukamiramu era okakase nti okola ebyetagiisa ebiwa ente emirembe nga zikamwa. Nekisemabayo, kola entekateka z‘okufuna obutale nga tonatandika kulunda.