Nga akakodyo akakozesebwa mu ndabirira n’enkwatamu y’ensolo, okusalako amayembe g’obuyana kyongera omutindo n’obungi bwebyo byoggya mu nsolo.
Obuyana bwetaaga okusalako amayembe amangu ddala nga tebunaweze nnaku 28 kuba bwe buweza wiiki 2 kyetaaga okukozesa enkola ennansi ey’okutta obulumi nga tebanaaggyako mayembe. Enkola ennansi ey’okutta obulumi emalawo obulumi n’ekyanguya okusalako obuyembe amangu.
Omutendera gw’okusalako amayembe
Ng’ogoberera omutendera guno, kozesa enkola ennansi ey’okutta obulumi mu kusalako amayembe g’obuyana n’empiso ezitazimbya buyana buto. Kwata ku buyembe, tta obulumi ng’okuba empiso ku njuuyi z’obuyembe zonna.
Mu ngeri y’emu, bugumya ekyuma ekikozesebwa mu kusalako amayembe n’okukuba akayana empiso n’eddagala eriziyiza okuzimba. Kebeera ng’okozesa empiso oba osse obulumi nga tonaatandika kusalako mayembe. Noonya obuyembe, salako enviiri, teeka ekyuma ekibugguma ku buyembe okumala eddakiika asatu.
Mu kumaliriza, simulayo amayembe era ofuuyirewo ne aluminium ekiwundu kireme kugendako nsowera.