Bwoba oyagala okutereka kasooli osobola okukozesa empeke z’eddagala okutta kawukuumi abeera asigalidde.
Ebiseera ebisinga okufirwa kwa kasooli kuva ku ntereka mbi. Kasooli bwalwa ennyo mu nimiro, asobola okuvunda olwo kawukumi nayonona akungudwa. Okwongerako, obutwa obutalabibwa maso busobola okuyingira mu kasooli. Okukaza kasooli kiyambako okwewala obutwa (aflatoxins).
Entereka ya kasooli
Ku naku 40 okuva lwoweta kasooli, abeera alina okukungulwa. Gyako eminwe gyona emivundu. Bwoba olina ekyuma ekisusa kakasa oba kigyako ebikuta oba nedda. Bwekiba tekigyako, kozesa engalo. Totabikanga kasooli omulungi n’omubi awamu, kubanga kasooli atali mulamu asobola okusiiga obulwadde omulamu. Okulongosa kasooli osobola okumuwewa nga okozesa empewo, ekiwujjo oba akatimba akasengejja. Kakasa nti empeke nkalu nga tonazitereka. Osobola okufunayo empeke noziluma oba okuzikanyuga mu kunsawo okuwulira oba zikola eddobozi oba nedda. Kakasa nti wokolera wayonjo. Okukuuma kasooli nga muyonjo, mutekenga ku tundubali. Ekyagi kirina okuba ekikalu nga kiyonjo munda. Leka kasooli awole nga tonamutereka, kubanga ekitali ekyo asobola okusaka ebbugumu nga awola.
Amakerenda agata kawukuumi
Nga omazze okuteeka kasooli mu kyagi, sala ekikyupa ekisanuuka ofunemu bibiri ojjuzemu amakererenda. Kozesa ekerenda limu ku buli bungi bwa pawundi 400. Teeka ekyupa omuli amakerenda waggulu ku kyagi. Olwo ogisibeko nakasanikira akananuka. Amakerenda kasanula omukka ogutta kawukuumi yenna abeera asigalidde. Nga wayise enaku 12 osobola ekyupa okujigyayo wamu n’evvu erivude mu makerenda. Kwegamba wetangire nokuyiwa eddagala mu kasooli. Kakasa nti tosika muka guva mu makerenda. Bwomala okugyayo ekyupa mu kyagi sima ekinnya mu ttaka, webaseyo eccupa n’evvu munda obizike, Buli lwogya kasooli mu kyagi kakasa nti osibawo mangu ddala, okulaba nga kawukumi tayingira.