Ennyaanya kye kimu ku nva endiirwa ezettanirwa ennyo mu nsi zonna naye zirumbibwa endwadde nnyingi. Kiwotokwa w‘ennyaanya y‘endwadde esinga mu nnyaanya.
Ekirime ky‘ennyaanya bwe kirumbibwa kiwotokwa, ekirime kitandika okuwotoka naye nga ebikoola bya kiragala. Enduli eyinza okulabika ng‘ennamu kungulu naye ng‘envunda munda. Enduli y‘ekirime ekirwadde bw‘esalibwa n‘eteekebwa mu giraasi y‘amazzi amayonjo, amazzi g‘olutaatata gatandika okuva mu nduli. Amazzi g‘olutaatata ge galeeta okuwotoka.
Okuziyiza kiwotokwa
Bw‘olaba kiwotokwa, ekyandisinze obulungi kwekukuula n‘okusuula ekirime ekirwadde wala ddala okuva ku nnimiro okwewala obuwuka obuleeta kiwotokwa.
Okufuuyira ettaka n‘eddagala nga tonnasimba kisobola okuyamba okutta obuwuka obuleeta kiwotokwa.
Obusiringanyi obusirikitu buleeta obutulututtu ku mirandira gy‘ebirime obuwuka mwe buyita okulumba ebirime. Okukozesa eddagala erifuuyira obusiringanyi obusirikitu kiyamba okwewala kiwotokwa.